Isaaya 30 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 30:1-33

Zirisanze Eggwanga Ejjeemu

130:1 a Is 29:15 b Is 1:2 c Is 8:12“Zibasanze abaana abajeemu,

Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza

ne batta omukago30:1 Kino kyogera ku kutta omukago ne Misiri awatali Mwoyo wange

ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.

230:2 a Is 31:1 b Kbl 27:21 c Is 36:9“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,

ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,

n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri

okuba obuddukiro.

330:3 Is 20:4-5; 36:6Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,

n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.

430:4 Is 19:11Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani

n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,

530:5 nny 7buli muntu aliswazibwa

olw’eggwanga eritabagasa,

abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,

okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.

630:6 a Kuv 5:10, 21; Is 8:22; Yer 11:4 b Ma 8:15 c Is 15:7Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:

Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku

ne batawaanyizibwa

mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,

erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa

nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,

n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira

nga boolekedde ensi etaliimu magoba.

7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.

Kyenva muyita Lakabu

ataliiko kyayinza kukola.

830:8 Is 8:1; Kbk 2:2Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,

okiwandiike ku mizingo,

kibabeererenga obujulizi

obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.

930:9 a Is 28:15; 59:3-4 b Is 1:10Weewaawo bano bantu bajeemu,

baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.

1030:10 a Yer 11:21; Am 7:13 b 1Bk 22:8 c Ez 13:7; Bar 16:18Bagamba abalabi nti,

“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”

N’eri bannabbi boogera nti,

“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.

Mututegeeze ebitusanyusa,

mulagule ebituwabya.

1130:11 Yob 21:14Muve mu kkubo lino,

mukyame muve ku luguudo luno,

mulekeraawo okututegeeza

ku Mutukuvu wa Isirayiri.”

1230:12 a Is 5:24 b Is 5:7Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,

ne mwesiga okunyigirizibwa,

ne mwesiga omulimba,

1330:13 a Zab 62:3 b 1Bk 20:30 c Is 29:5ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,

alimu enjatika era azimbye,

okutemya n’okuzibula ng’agudde.

1430:14 Zab 2:9; Yer 19:10-11Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,

n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,

era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika

okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,

oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

1530:15 Is 32:17Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,

mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,

naye temufuddeeyo.

1630:16 Is 31:1, 3Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’

Kyoliva odduka.

Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’

Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.

1730:17 a Lv 26:8; Yos 23:10 b Lv 26:36; Ma 28:25Abantu olukumi balidduka

olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;

Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,

olidduka,

Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,

ng’ebendera eri ku kasozi.”

1830:18 a Is 42:14; 2Pe 3:9, 15 b Is 5:16 c Is 25:9Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;

era agolokoka okukulaga okusaasira.

Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,

balina omukisa bonna abamulindirira.

1930:19 a Is 60:20; 61:3 b Zab 50:15; Is 58:9; 65:24; Mat 7:7-11Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 2030:20 a 1Bk 22:27 b Zab 74:9; Am 8:11Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,30:20 keberako mu bitabo ebirala okwongera okunnyonnyolwa ebigambo ebyo abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 2130:21 Is 29:24Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 2230:22 Kuv 32:4Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

2330:23 a Is 65:21-22 b Zab 65:13Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 2430:24 Mat 3:12; Luk 3:17Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 2530:25 a Is 2:15 b Is 41:18Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 2630:26 a Is 24:23; 60:19-20; Kub 21:23; 22:5 b Ma 32:39; Is 1:5Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

2730:27 a Is 59:19 b Is 66:14 c Is 10:5Laba, erinnya lya Mukama liva wala

n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;

emimwa gye gijjudde ekiruyi,

n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.

2830:28 a Is 11:4 b Is 8:8 c Am 9:9 d 2Bk 19:28; Is 37:29Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi

agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.

Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa

era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.

2930:29 Zab 42:4Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;

omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere

ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.

30Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,

alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

3130:31 a Is 10:5, 12 b Is 11:4Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,

alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.

3230:32 Is 11:15; Ez 32:10Buli muggo Mukama gw’anakukubanga

n’oluga lwe olubonereza,

guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,

ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.

3330:33 a 2Bk 23:10 b Lub 19:24Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;

ky’ateekebwateekebwa kabaka.

Ekinnya kyakyo eky’omuliro

kiwanvu era kigazi,

kijjudde omuliro n’enku;

omukka gwa Mukama

gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

Korean Living Bible

이사야 30:1-33

이집트를 의지하는 유다

1여호와께서 말씀하셨다. “나를 거역하는 자들에게 화가 있을 것이다. 그 들은 내가 세우지 않은 계획을 수행하며 내 뜻에 맞지 않는 조약을 맺어 죄에 죄를 더하고 있다.

2그들은 나에게 물어 보지도 않고 이집트의 도움을 얻고자 그리로 내려가서 이집트 왕을 의지하였다.

3그러나 이집트 왕은 그들을 도울 힘이 없을 것이니 그의 보호를 받으려 하는 자들이 수치를 당할 것이다.

4비록 그들의 대신들이 이집트의 소안에도 있고 그들의 사신들이 하네스에 도착했을지라도

5아무런 도움이나 유익을 주지 못하고 부끄러움만 안겨다 주는 나라를 의지한 것 때문에 유다 사람들은 수치를 당하고 후회할 것이다.”

6이것은 남쪽 네겝의 짐승들에 관한 여호와의 말씀이다. “사신들이 자기들을 도울 수도 없는 자들에게 줄 값비싼 선물을 나귀와 낙타 등에 잔뜩 싣고 사자가 우글거리며 독사와 날아다니는 뱀이 사는 위험하고 거친 땅을 지나 이집트로 내려갔다.

7그러나 이집트의 도움이 아무 쓸모가 없으므로 내가 이집트에게 30:7 원문에는 ‘가만히 앉은 라합’‘종이 호랑이’ 라는 별명을 붙였다.”

거역하는 백성

8여호와께서는 이 백성의 악한 소행을 책에 기록하여 그것을 후세에 영원히 남기라고 나에게 말씀하셨다.

9이것은 그들이 언제나 하나님을 거역하고 거짓말을 하며 항상 여호와의 가르침을 들으려고 하지 않았기 때문이다.

10그들은 예언자들에게 입을 열지 못하게 하고 이렇게 말한다. “너희는 우리에게 옳은 것을 예언하지 말아라. 우리에게 듣기 좋은 말을 하고 거짓된 것을 예언하라.

11너희는 우리에게서 떠나고 우리 길을 막지 말아라. 우리는 이스라엘의 거룩한 자에 대하여 더 이상 듣고 싶지 않다.”

12그러므로 이스라엘의 거룩하신 하나님이 이렇게 말씀하셨다. “너희는 내 말을 무시하고 오히려 30:12 또는 ‘압박과 허망을’사기와 거짓말을 믿고 따른다.

13이 죄 때문에 너희는 갈라져 불쑥 튀어나온 높은 담과 같아서 순식간에 무너질 것이며

14숯불을 담아 옮기거나 물을 뜰 조각 하나 남지 않고 산산이 부서진 질그릇처럼 박살이 나고 말 것이다.”

15주 여호와 이스라엘의 거룩하신 분이 “너희는 돌아와서 말없이 나를 신뢰하라. 그러면 너희가 구원을 받고 힘을 얻을 것이다” 하셨으나 너희는 그렇게 하기를 원하지 않고

16오히려 빠른 말을 타고 달아날 것이라고 호언 장담하였다. 그렇다! 너희 말대로 너희는 달아날 수밖에 없을 것이다. 너희가 탄 말이 빠르다고 생각하겠지만 너희를 추격하는 너희 원수들의 말이 더 빠를 것이다.

17그러므로 적 한 사람의 위협에 너희 천 명이 달아날 것이며 적 다섯 명만 나타나도 너희는 다 달아나고 남은 자는 산꼭대기의 외로운 깃대와 같을 것이다.

18그러나 여호와께서는 아직도 너희가 돌아오기를 기다리고 계시며 너희에게 사랑을 베푸시려고 하신다. 여호와는 의로우신 분이시므로 너희를 불쌍히 여기실 것이다. 그러므로 여호와를 의지하는 자는 복 있는 자이다.

은혜를 베푸시는 하나님

19예루살렘에 사는 내 백성들아, 너희가 다시는 통곡하지 않을 것이다. 여호와께서 너희에게 은혜를 베푸셔서 너희가 부르짖을 때에 응답하실 것이다.

20그가 너희에게 환난의 떡과 고생의 물을 주시지만 그가 너희와 함께하여 직접 너희를 가르치실 것이니 너희 눈이 너희 스승을 볼 것이다.

21그리고 만일 너희가 바른 길에서 벗어나 방황하면 너희는 “바른 길이 여기 있다. 이 길을 걸어라” 하고 너희 뒤에서 말씀하시는 그의 음성을 듣게 될 것이다.

22또 너희는 너희 금은 우상을 다 때려 부수고 30:22 또는 ‘생리대를’불결한 물건을 집어 던지듯이 그것을 던지며 “영원히 사라져라!” 하고 외칠 것이다.

23너희가 씨를 뿌릴 때마다 농작물이 잘 자라도록 여호와께서 비를 주셔서 너희 수확이 풍성하게 하실 것이며 너희 가축도 넓은 목장에서 마음껏 풀을 뜯어먹게 될 것이다.

24밭을 가는 소와 나귀도 제일 맛있는 사료를 먹을 것이며

25망대가 무너지고 너희 원수들이 크게 죽음을 당하는 날에는 모든 산과 골짜기에 물이 넘쳐흐를 것이다.

26여호와께서 자기 백성의 상처를 싸매시고 고치시는 날에 달이 해처럼 밝을 것이며 햇빛은 7배나 더 밝아 7일 동안의 광량에 맞먹는 빛을 낼 것이다.

앗시리아에 대한 심판

27보라! 여호와께서 크게 분노하셔서 빽빽한 구름에 둘러싸여 멀리서 오신다. 그가 말씀하시니 그 말이 무서운 불길과 같구나.

28그가 분노를 홍수처럼 쏟아 교만한 민족들을 쓸어 버리시고 그들의 입에 파멸의 재갈을 물리실 것이다.

29그러나 하나님의 백성들아, 너희는 거룩한 명절의 밤을 즐기듯이 노래를 부를 것이며 피리 소리에 맞춰 이스라엘의 반석 되시는 30:29 원문에는 ‘여호와의 산으로’여호와의 성전으로 올라가는 자들처럼 마음이 즐거울 것이다.

30여호와께서 모든 사람들에게 그의 장엄한 목소리를 듣게 하시고 무서운 화염과 폭우와 폭풍과 우박으로 그의 분노를 느끼게 하실 것이다.

31앗시리아 사람들은 여호와께서 그들을 벌하실 때 여호와의 음성을 듣고 두려워 떨 것이며

32여호와께서 그들을 치실 때마다 여호와의 백성들은 소고를 치고 수금을 타며 기뻐할 것이다.

33오래 전에 큰 불로 앗시리아 황제를 태울 화장터가 마련되었으니 그것은 나무를 잔뜩 쌓아 올린 깊고 넓은 장소이다. 여호와께서 유황불과 같은 불을 토해 그 곳을 완전히 태워 버릴 것이다.