Isaaya 29 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 29:1-24

Zikusanze Ekibuga kya Dawudi

129:1 a Is 22:12-13 b 2Sa 5:9 c Is 1:14Zikusanze ggwe Alyeri29:1 Alyeri lye linnya eryaweebwa Yerusaalemi.,

Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,

yongera omwaka ku mwaka,

n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso.

229:2 Is 3:26; Kgb 2:5Wabula ndizingiza Alyeri,

alikuba ebiwoobe era alikungubaga,

era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri.

329:3 Luk 19:43-44Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,

era ndikwetoolooza eminaala,

ne nkusaako ebifunvu.

429:4 Is 8:19Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,

n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.

Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,

n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

529:5 a Is 17:13 b Is 17:14; 1Bs 5:3Naye abalabe bo abangi

baliba ng’enfuufu eweweddwa,

n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubi

bibe ng’ebisasiro ebifuumuuka.

629:6 Mat 24:7; Mak 13:8; Luk 21:11; Kub 11:19Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira

mu kubwatuuka ne mu musisi,

ne mu ddoboozi ery’omwanguka,

ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.

729:7 a Mi 4:11-12; Zek 12:9 b Yob 20:8Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,

birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;

kiriba ng’ekirooto,

ng’okwolesebwa mu kiro

829:8 Zab 73:20ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya

naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;

oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa

naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.

Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna

agalwana n’Olusozi Sayuuni.

929:9 a Is 51:17 b Is 51:21-22Muwuniikirire era mwewuunye

Muzibirire era muzibe amaaso;

Batamiire, naye si na nvinnyo,

batagala, naye si lwa mwenge.

1029:10 a Zab 69:23; Is 6:9-10; Bar 11:8* b Mi 3:6 c 1Sa 9:9Mukama akuwadde otulo tungi,

azibye amaaso gammwe bannabbi,

era abisse emitwe gyammwe abalabi.

1129:11 Is 8:16; Mat 13:11; Kub 5:1-2Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

1329:13 a Ez 33:31 b Mat 15:8-9*; Mak 7:6-7*; Bak 2:22Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,

ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,

naye ng’emitima gyabwe gindi wala.

Okunsinza kwe bansinza,

biragiro abantu bye baayigiriza.

1429:14 a Kbk 1:5 b Yer 8:9; 49:7 c Is 6:9-10; 1Ko 1:19*Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.

Amagezi g’abagezi galizikirira,

n’okutegeera kw’abategeevu

kuliggwaawo.”

1529:15 a Zab 10:11-13; 94:7; Is 57:12 b Yob 22:13Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola

okukweka Mukama enteekateeka zaabwe,

abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,

“Ani atulaba? Ani alimanya?”

1629:16 Is 45:9; 64:8; Bar 9:20-21*Mufuula ebintu

ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.

Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,

“Teyankola”?

Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,

“Talina ky’amanyi”?

1729:17 a Zab 84:6 b Is 32:15Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,

n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?

1829:18 a Mak 7:37 b Is 32:3; 35:5; Mat 11:5Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,

n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.

1929:19 a Is 61:1; Mat 5:5; 11:29 b Is 14:30; Mat 11:5; Yak 1:9; 2:5Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,

n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.

2029:20 a Is 28:22 b Is 59:4; Mi 2:1Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,

n’omunyoomi alibula,

n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,

2129:21 a Am 5:10, 15 b Is 5:23; 32:7abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,

abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,

ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.

2229:22 a Is 41:8; 63:16 b Is 49:23Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

Yakobo taliddayo kuswazibwa,

n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.

2329:23 a Is 49:20-26 b Is 19:25Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,

balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.

Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo

era baliyimirira

ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.

2429:24 a Is 28:7; Beb 5:2 b Is 41:20; 60:16 c Is 30:21Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,

n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.