125:1 a Zab 98:1 b Kbl 23:19Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
225:2 a Is 17:1 b Is 17:3 c Is 13:22Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
325:3 Is 13:11Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
425:4 a Is 4:6; 17:10; 27:5; 33:16 b Is 29:5; 49:25Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
525:5 Yer 51:55era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
625:6 a Is 2:2 b Is 1:19; Mat 8:11; 22:4 c Nge 9:2Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
725:7 2Ko 3:15-16; Bef 4:18Ku lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
825:8 a Kos 13:14; 1Ko 15:54-55* b Is 30:19; 35:10; 51:11; 65:19; Kub 7:17; 21:4 c Mat 5:11; 1Pe 4:14era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
925:9 a Is 40:9 b Zab 20:5; Is 33:22; 35:4; 49:25-26; 60:16 c Is 35:2, 10Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
1025:10 Am 2:1-3Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,
naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,
ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.
1125:11 a Is 5:25; 14:26; 16:14 b Yob 40:12Aligolola emikono gye,
ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.
Katonda alikkakkanya amalala ge
newaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.
1225:12 Is 15:1Alimenya bbugwe omuwanvu,
n’amusuula,
alimusuula ku ttaka,
mu nfuufu.