Isaaya 24 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 24:1-23

Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi

124:1 nny 20; Is 2:19-21; 33:9Laba Mukama alifuula ensi amatongo,

agimalirewo ddala,

era azikirize n’obwenyi bwayo

era asaasaanye n’abagibeeramu.

224:2 a Kos 4:9 b Ez 7:12 c Lv 25:35-37; Ma 23:19-20Bwe kityo bwe kiriba,

ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,

ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,

ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,

ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,

ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,

ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.

324:3 Is 6:11-12Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,

n’okunyagibwa, erinyagibwa.

Mukama Katonda y’akyogedde.

424:4 Is 2:12Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,

ensi ekala n’ewuubaala,

abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.

524:5 a Lub 3:17; Kbl 35:33 b Is 10:6; 59:12Ensi eyonooneddwa abantu baayo,

bajeemedde amateeka,

bamenye ebiragiro,

ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.

624:6 Is 1:31Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;

n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.

Abatuuze b’ensi bayidde,

Era abatono be basigaddewo.

724:7 a Yo 1:10-12 b Is 16:8-10Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,

ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.

824:8 a Is 5:12 b Yer 7:34; 16:9; 25:10; Kos 2:11 c Kub 18:22 d Ez 26:13Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,

n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,

entongooli esanyusa esirise.

924:9 a Is 5:11, 22 b Is 5:20Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,

n’omwenge gukaayira abagunywa.

10Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,

na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.

1124:11 Is 16:10; 32:13; Yer 14:3Bakaabira envinnyo mu nguudo,

n’essanyu lyonna liweddewo,

n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.

12Ekibuga kizikiridde

wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.

1324:13 Is 17:6Bwe kityo bwe kiriba ku nsi

ne mu mawanga

ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa

oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.

1424:14 Is 12:6Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,

batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.

1524:15 a Is 66:19 b Is 25:3; Mal 1:11Noolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,

mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,

mu bizinga eby’ennyanja.

1624:16 a Is 28:5 b Is 21:2; Yer 5:11Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,

“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”

Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.

Zinsaze.

Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,

Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”

1724:17 Yer 48:43Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,

mmwe abantu b’ensi.

1824:18 a Lub 7:11 b Zab 18:7Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,

aligwa mu kinnya,

na buli alirinnya n’ava mu kinnya

alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,

N’emisingi gy’ensi gikankana.

1924:19 Ma 11:6Ensi emenyeddwamenyeddwa,

ensi eyawuliddwamu,

ensi ekankanira ddala.

2024:20 a Is 19:14 b Is 1:2, 28; 43:27Ensi etagala ng’omutamiivu,

eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,

omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,

era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.

2124:21 Is 10:12Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza

ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,

ne bakabaka abali wansi ku nsi.

2224:22 a Is 10:4 b Is 42:7, 22 c Ez 38:8Balikuŋŋaanyirizibwa wamu

ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,

era baliweebwa ekibonerezo

eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.

2324:23 a Is 13:10 b Kub 22:5 c Beb 12:22 d Is 60:19Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;

Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa

ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,

ne mu maaso g’abakadde.