Isaaya 20 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 20:1-6

Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi

120:1 2Bk 18:17Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; 220:2 a Is 13:1 b Zek 13:4; Mat 3:4 c Ez 24:17, 23 d 1Sa 19:24 e Mi 1:8mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.

320:3 a Is 8:18 b Is 37:9; 43:3Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 420:4 a Is 19:4 b Is 47:3; Yer 13:22, 26bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 520:5 2Bk 18:21; Is 30:5Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. 620:6 a Is 10:3 b Yer 30:15-17; Mat 23:33; 1Bs 5:3; Beb 2:3Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”