Isaaya 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 2:1-22

Olusozi lwa Mukama

12:1 Is 1:1Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

22:2 Is 27:13; 56:7; 66:20; Mi 4:7Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda

lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,

luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,

era amawanga gonna galilwolekera.

32:3 a Is 51:4, 7 b Luk 24:47Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,

mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,

alyoke atuyigirize amakubo ge,

tulyoke tutambulire mu mateeka ge.

Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,

era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.

42:4 a Yo 3:10 b Zab 46:9; Is 9:5; 11:6-9; 32:18; Kos 2:18; Zek 9:10Alisala enkaayana z’amawanga,

aliramula emisango gy’abantu bangi,

era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,

n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.

Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,

so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

52:5 a Is 58:1 b Is 60:1, 19-20; 1Yk 1:5, 7Ggwe ennyumba ya Yakobo,

mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.

62:6 a Ma 31:17 b 2Bk 1:2 c Nge 6:1 d 2Bk 16:7Wayabulira abantu bo

ab’ennyumba ya Yakobo,

kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,

n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,

era basizza kimu ne bannamawanga.

72:7 a Ma 17:16 b Is 31:1; Mi 5:10Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,

n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:

ensi yaabwe ejjudde embalaasi,

era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.

82:8 a Is 10:9-11 b Is 17:8Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,

basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,

engalo zaabwe gwe zeekolera.

92:9 a Zab 62:9 b Is 5:15 c Nek 4:5Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,

omuntu wa kussibwa wansi.

Mukama, tobasonyiwa!

102:10 2Bs 1:9; Kub 6:15-16Mugende mwekweke mu njazi,

mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,

nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,

nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.

112:11 Is 5:15; 37:23Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu

n’amalala ge lwe birizikirizibwa,

era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.

122:12 a Is 24:4, 21; Mal 4:1 b Yob 40:11Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese

eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,

eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde

okwemanya n’okwewulira.

132:13 Zek 11:2Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,2:13 Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi emiwanvu emigulumivu,

n’emivule gyonna egya Basani.

142:14 Is 30:25; 40:4Era n’ensozi zonna empanvu,

n’obusozi bwonna obugulumivu.

152:15 Is 25:2, 12Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,

na buli bbugwe gwe bakomese.

162:16 1Bk 10:22Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,

n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.

172:17 nny 11Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,

n’amalala g’abantu galissibwa;

era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.

182:18 Is 21:9N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.

192:19 Beb 12:26Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,

ne mu binnya mu ttaka,

nga badduka entiisa

n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,

bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.

202:20 Lv 11:19Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala

bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,

be beekolera nga ba kusinzanga,

ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.

212:21 nny 19Balidduka ne beekukuma mu mpuku

ez’amayinja amaatifu

nga badduka entiisa

n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,

bwaliyimuka okukankanya ensi.

222:22 a Zab 146:3; Yer 17:5 b Zab 8:4; 144:3; Is 40:15; Yak 4:14Mulekeraawo okwesiga omuntu

alina omukka obukka mu nnyindo ze.

Kiki ennyo kyali?