Isaaya 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 19:1-25

Obunnabbi Obukwata ku Misiri

119:1 a Is 13:1; Yer 43:12 b Kuv 12:12; Yo 3:19 c Zab 18:10; 104:3; Kub 1:7 d Yos 2:11Obunnabbi obukwata ku Misiri:

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo

ajja mu Misiri.

Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,

n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.

219:2 a Bal 7:22; Mat 10:21, 36 b 2By 20:23Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,

balwane buli muntu ne muganda we,

na buli muntu ne muliraanwa we;

ekibuga n’ekibuga,

obwakabaka n’obwakabaka.

319:3 Is 8:19; 47:13; Dan 2:2, 10Abamisiri baliggwaamu omwoyo

era entegeka zaabwe zonna ndizitta;

era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,

n’abaliko emizimu n’abalogo.

419:4 Is 20:4; Yer 46:26; Ez 29:19Era ndigabula Abamisiri

mu mukono gw’omufuzi omukambwe,

era kabaka ow’entiisa alibafuga,19:4 Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri

bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

519:5 Yer 51:36Omugga gulikalira

n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.

619:6 a Kuv 7:18 b Is 37:25; Ez 30:12 c Is 15:6N’emikutu giriwunya ekivundu,

n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;

ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.

719:7 Is 23:3Ebimera ebiri ku Kiyira,

ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,

ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,

birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.

819:8 a Ez 47:10 b Kbk 1:15Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,

n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira

balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.

919:9 Nge 7:16; Ez 27:7Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,

n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.

10Abakozi balikwatibwa ennaku,

bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.

1119:11 a Kbl 13:22 b 1Bk 4:30; Bik 7:22Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,

n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.

Mugamba mutya Falaawo nti,

“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?

1219:12 a 1Ko 1:20 b Is 14:24; Bar 9:17Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?

Leka bakubuulire bakutegeeze

Mukama Katonda ow’Eggye

ky’ategese okutuusa ku Misiri.

1319:13 Yer 2:16; Ez 30:13, 16Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,

abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,

abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga

bakyamizza Misiri.

1419:14 Mat 17:17Mukama abataddemu

omwoyo omubambaavu

era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,

ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.

1519:15 Is 9:14Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,

agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.

1619:16 a Yer 51:30; Nak 3:13 b Beb 10:31 c Is 11:15Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 1719:17 Is 14:24N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.

1819:18 Zef 3:9Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 1919:19 a Yos 22:10 b Lub 28:18Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 2019:20 Is 49:24-26Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 2119:21 a Is 11:9 b Is 56:7; Mal 1:11Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 2219:22 a Beb 12:11 b Is 45:14; Kos 14:1 c Ma 32:39Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.

2319:23 a Is 11:16 b Is 27:13Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 2519:25 a Zab 100:3 b Is 29:23; 45:11; 60:21; 64:8; Bef 2:10 c Kos 2:23Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”