Isaaya 17 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 17:1-14

Obubaka Obukwata ku Ddamasiko

117:1 a Lub 14:15; Yer 49:23; Bik 9:2 b Is 25:2; Am 1:3; Zek 9:1“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,

kifuuse matongo.

217:2 a Is 7:21; Ez 25:5 b Yer 7:33; Mi 4:4Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:

birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga

nga tewali azikanga.

317:3 a nny 4; Kos 9:11 b Is 7:8, 16; 8:4Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,

n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;

naye abalisigalawo mu Busuuli,

baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”

bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

417:4 Is 10:16“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera;

era akoggere ddala.

517:5 nny 11; Yer 51:33; Yo 3:13; Mat 13:30Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano,

n’omukono gwe ne gukungula empeke;

weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano

mu Kiwonvu kya Lefayimu.

617:6 a Ma 4:27; Is 24:13 b Is 27:12Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa

ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa,

ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo,

bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,”

bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.

717:7 a Is 10:20 b Mi 7:7Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,

n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.

817:8 Is 2:18, 20; 30:22So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe,

emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera,

oba empagi za katonda wa Baasera

oba ebyoto kwe bootereza obubaane.

9Mu biro ebyo ebibuga byabwe eby’amaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ng’ebifo ebyameramu ebisaka ne kalandalugo. Byonna birisigala matongo.

1017:10 a Is 51:13 b Zab 68:19; Is 12:2Weerabidde Katonda Omulokozi wo,

so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go;

kyova osimbamu ebisimbe eby’okukusanyusa

n’osigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.

1117:11 a Zab 90:6 b Kos 8:7 c Yob 4:8Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,

era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,

tolibaako ky’okungula

wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.

1217:12 Zab 18:4; Yer 6:23; Luk 21:25Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,

bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!

Okuwuluguma kw’abantu,

bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!

1317:13 a Zab 9:5 b Is 13:14 c Is 41:2, 15-16 d Yob 21:18Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,

Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.

Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;

era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.

1417:14 2Bk 19:35Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi.

Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali.

Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga,

era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.