Isaaya 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 13:1-22

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

1Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

213:2 Yer 50:2; 51:27Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,

mubakaabirire

mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.

313:3 a Yo 3:11 b Zab 149:2Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange

mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,

babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

413:4 Yo 3:14Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,

nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!

Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,

olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!

Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka

eggye lye okulwana.

513:5 a Is 5:26 b Is 24:1Bava wala mu nsi ezeewala ennya

okuva ku nkomerero y’eggulu.

Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa

eby’okuzikiriza ensi yonna.

613:6 a Ez 30:2 b Is 2:12; Yo 1:15Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,

lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!

713:7 Ez 21:7Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,

na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;

813:8 a Is 21:4 b Nak 2:10era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.

Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

9Laba olunaku lwa Mukama lujja,

olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka

okufuula ensi amatongo,

n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.

1013:10 a Is 24:23 b Is 5:30; Kub 8:12 c Ez 32:7; Mat 24:29*; Mak 13:24*Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo

tebiryaka;

enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,

n’omwezi nagwo tegulyaka.

1113:11 Is 3:11; 11:4; 26:21Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,

n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.

Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala

era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.

1213:12 Is 4:1Abantu ndibafuula abebbula

okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.

1313:13 Is 34:4; 51:6; Kag 2:6Noolwekyo ndikankanya eggulu,

era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,

olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,

ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

1413:14 a 1Bk 22:17 b Yer 50:16Era ng’empeewo eyiggibwa,

ng’endiga eteriiko agirunda,

buli muntu aliddukira eri abantu be

buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.

1513:15 a Yer 51:4 b Is 14:19; Yer 50:25Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,

buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.

1613:16 Zab 137:9N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;

ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

1713:17 a Yer 51:1 b Nge 6:34-35Laba, ndibayimbulira Abameedi,

abatafa ku ffeeza

era abateeguya zaabu.

18Emitego gyabwe girikuba abavubuka

era tebaliba na kisa eri abawere.

Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.

1913:19 a Dan 4:30 b Kub 14:8 c Lub 19:24Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,

obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,

kiriba nga Sodomu ne Ggomola

Katonda bye yawamba.

2013:20 a Is 14:23; 34:10-15 b 2By 17:11Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,

so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,

so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,

teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.

2113:21 Kub 18:2Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;

ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;

bammaaya banaabeeranga eyo,

n’ebikulekule bibuukire eyo.

2213:22 a Is 25:2 b Is 34:13 c Yer 51:33N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,

ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.

Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,

ennaku ze teziryongerwako.