Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe
112:1 Is 25:1Ku lunaku olwo oligamba nti,
“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
212:2 a Is 26:3 b Kuv 15:2; Zab 118:14Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
312:3 Yk 4:10, 14Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
412:4 Zab 105:1; Is 24:15Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
512:5 a Kuv 15:1 b Zab 98:1Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
612:6 a Is 49:26 b Zef 3:14-17Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”