Isaaya 11 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 11:1-16

Ettabi Eririva ku Yese

111:1 a nny 10; Is 9:7; Kub 5:5 b Is 4:2Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,

ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.

211:2 a Is 42:1; 48:16; 61:1; Mat 3:16; Yk 1:32-33 b Bef 1:17 c 2Ti 1:7Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,

Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera

ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi

ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

311:3 a Yk 7:24 b Yk 2:25Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,

oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,

411:4 a Zab 72:2 b Is 9:7 c Is 3:14 d Mal 4:6 e Yob 4:9; 2Bs 2:8naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,

era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;

era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,

era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.

511:5 a Is 25:1 b Bef 6:14Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,

n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

611:6 Is 65:25Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,

n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;

era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;

era omwana omuto yalizirabirira.

7Ente n’eddubu biririira wamu,

abaana baazo banaagalamiranga wamu.

Empologoma erirya omuddo ng’ente.

8N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,

n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.

911:9 a Yob 5:23 b Zab 98:2-3; Is 52:10 c Is 45:6, 14; Kbk 2:14Tewalibeera kukolaganako bulabe

wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.

Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,

ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

1011:10 a Yk 12:32 b Is 49:23; Luk 2:32 c Bar 15:12* d Is 14:3; 28:12; 32:17-18Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. 1111:11 a Is 10:20 b Is 19:24; Kos 11:11; Mi 7:12; Zek 10:10 c Lub 10:22 d Is 42:4, 10, 12; 66:19Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri11:11 Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka. okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

1211:12 Zef 3:10Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;

aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.

1311:13 Yer 3:18; Ez 37:16-17, 22; Kos 1:11Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,

n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.

Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya

wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.

1411:14 a Dan 11:41; Yo 3:19 b Is 16:14; 25:10Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;

era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.

Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;

n’abaana ba Amoni balibagondera.

1511:15 a Is 19:16 b Is 7:20Era Mukama Katonda alikaliza

omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;

era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati

ne guleetawo omuyaga ogukaza,

agwawulemu ebitundu musanvu

abantu bye banaasomokanga ku bigere.

1611:16 a Is 19:23; 62:10 b Kuv 14:26-31Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga

eryasigala ku Bwasuli

nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku

lwe baaviirako mu Misiri.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 11:1-16

大卫的后裔做王

1就像树墩上长出新的枝条,

大卫的后裔中必有一人做王。

2耶和华的灵必住在他身上,

使他有聪明和智慧、谋略和能力,

能认识并敬畏耶和华。

3他必以敬畏耶和华为乐。

他不凭眼见施行审判,

不凭耳闻断定是非,

4而是按公义审判贫穷人,

以公正为受苦者断案。

他必用口中的杖击打世界,

以嘴里的气杀戮恶人。

5公义必作他的腰带,

信实必作他肋下的带子。

6那时,豺狼和绵羊羔同住,

豹子和山羊羔同卧,

牛犊和狮子同群,

小孩子可以照看它们。

7牛与熊一起吃喝,

小牛和小熊一起躺卧,

狮子像牛一样吃草。

8吃奶的婴孩在毒蛇的洞口玩耍,

断奶的孩子把手伸进蛇洞。

9在我的整个圣山上,

它们都不伤人、不害物。

认识耶和华的人必充满天下,

就像水充满海洋一样。

10到那日,耶西的根必成为引导万民的旗帜,外族人都来寻求他,他的住处充满荣耀。 11到那日,主必再次伸手从亚述埃及巴特罗古实以拦示拿哈马和众海岛救回祂剩余的子民。

12祂必向各国竖立旗帜,

召集被掳的以色列人,

把分散在世界各地的犹大人聚集起来。

13以色列必不再嫉妒犹大

犹大必不再与以色列为敌,

以色列的嫉妒和犹大的敌意必烟消云散。

14他们必联合起来,

向西征讨非利士

向东征服以东摩押亚扪

15耶和华必使埃及的海干涸,

挥手用焦热的风使幼发拉底河分成七条溪流,

使人可以涉水而过。

16祂剩余的子民必沿着大路从亚述归回,

就像昔日以色列人离开埃及一样。