Isaaya 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 10:1-34

110:1 Zab 58:2Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,

n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,

210:2 a Is 3:14 b Is 5:23okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;

era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,

ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,

n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!

310:3 a Yob 31:14; Kos 9:7 b Luk 19:44 c Is 20:6Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango

ne mu kuzikirira okuliva ewala?

Muliddukira w’ani alibayamba?

Obugagga bwammwe mulibuleka wa?

410:4 a Is 24:22 b Is 22:2; 34:3; 66:16 c Is 5:25Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe

oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,

era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli

510:5 a Is 14:25; Zef 2:13 b Yer 51:20 c Is 13:3, 5, 13; 30:30; 66:14“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,

era omuggo gw’ekiruyi kyange.

610:6 a Is 9:17 b Is 9:19 c Is 5:29Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,

era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,

abanyage, ababbire ddala,

n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

710:7 Lub 50:20; Bik 4:23-28Naye kino si kye kigendererwa kye,

kino si ky’alowooza.

Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,

okumalirawo ddala amawanga mangi.

810:8 2Bk 18:24‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.

910:9 a Lub 10:10 b 2By 35:20 c 2Bk 17:6 d 2Bk 16:9‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,

ne Kamasi nga Alupaadi,

ne Samaliya nga Ddamasiko?

1010:10 2Bk 19:18Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,

abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,

11nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala

si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”

1210:12 a Is 28:21-22; 65:7 b 2Bk 19:31 c Yer 50:18Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 1310:13 a Is 37:24; Dan 4:30 b Ez 28:4Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,

era n’olw’amagezi gange,

kubanga ndi mukalabakalaba:

Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,

ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.

1410:14 a Yer 49:16; Ob 4 b Yob 31:25Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,

omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;

ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,

bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,

tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,

newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

1510:15 a Is 45:9; Bar 9:20-21 b nny 5Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?

Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?

Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,

oba omuggo okusitula oyo atali muti.

1610:16 a nny 18; Is 17:4 b Is 8:7Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,

kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,

era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro

ogwokya ng’oluyiira.

1710:17 a Is 31:9 b Is 37:23 c Kbl 11:1-3 d Is 9:18Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,

n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,

mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala

amaggwa ge n’emyeramannyo gye.

1810:18 2Bk 19:23Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,

n’ennimiro ze, engimu,

ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.

1910:19 Is 21:17N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo

nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

2010:20 a Is 11:10, 11 b 2Bk 16:7 c 2By 28:20 d Is 17:7Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,

n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo

nga tebakyeyinulira ku oyo10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

eyabakuba

naye nga beesigama ku Mukama Katonda,

omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.

2110:21 a Is 6:13 b Is 9:6Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo

kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.

2210:22 a Bar 9:27-28 b Is 28:22; Dan 9:27Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,

abalikomawo nga balamu baliba batono.

Okuzikirira kwo kwa kubaawo

kubanga kusaanidde.

2310:23 Is 28:22; Bar 9:27-28*Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta

enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.

2410:24 a Zab 87:5-6 b Kuv 5:14Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,

temutyanga Abasuli,

newaakubadde nga babakuba n’oluga

era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.

2510:25 a Is 17:14 b nny 5; Dan 11:36Kubanga mu kaseera katono nnyo

obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

2610:26 a Is 37:36-38 b Is 9:4 c Kuv 14:16Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu

nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.

Era aligololera oluga lwe ku nnyanja

nga bwe yakola e Misiri.

2710:27 a Is 9:4 b Is 14:25Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,

n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;

ekikoligo kirimenyebwa

olw’obugevvu bwo.

2810:28 a 1Sa 14:2 b 1Sa 13:2Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,

liyise mu Migulooni,

era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.

2910:29 Yos 18:25Bayise awavvuunukirwa, e Geba

ne basulayo ekiro kimu,

Laama akankana,

Gibea wa Sawulo adduse.

3010:30 a 1Sa 25:44 b Nek 11:32Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!

Ggwe Layisa wuliriza!

Ng’olabye Anasosi!

31Madumena adduse,

abantu b’e Gebimu beekukumye.

3210:32 a 1Sa 21:1 b Yer 6:23Olwa leero bajja kusibira Nobu,

balyolekeza ekikonde kyabwe

eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,

akasozi ka Yerusaalemi.

3310:33 Am 2:9Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,

alitema amatabi n’entiisa

n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,

n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.

34Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;

Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.