Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ezera 1

Kuulo Ayamba Abawaŋŋanguse okuddayo

1Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,

“Bw’ati bw’ayogera Kuulo[a] kabaka w’e Buperusi nti,

“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi. Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”

Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi[b]. Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde. Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo. Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.

Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:

Esowaani eza zaabu amakumi asatu30,
Esowaani eza ffeeza lukumi1,000,
Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda29,
10 Ebibya ebya zaabu amakumi asatu30,
n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi410,
n’ebintu ebirala lukumi1,000.

11 Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400).

Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.

Notas al pie

  1. 1:2 Kuulo Obwakabaka bwa Kuulo bwavanga mu Buyindi ne butuuka ku Misiri, n’okuva ku Nnyanja Emyufu mu guyanja gw’e Buperusi okutuuka mu Esiyopya.
  2. 1:5 Olugendo lwali wakati wa kilomita 900 ne kilomita 1,000, nga lwa myezi ebiri oba esatu

New International Reader's Version

Ezra 1

Cyrus Helps the Jews to Return to Jerusalem

1It was the first year of the rule of Cyrus. He was king of Persia. The Lord inspired him to send a message all through his kingdom. It happened so that what the Lord had spoken through Jeremiah would come true. The message was written down. It said,

“Cyrus, the king of Persia, says,

“ ‘The Lord is the God of heaven. He has given me all the kingdoms on earth. He has appointed me to build a temple for him at Jerusalem in Judah. Any of his people among you may go up to Jerusalem and build the Lord’s temple. He is the God of Israel. He is the God who is in Jerusalem. And may their God be with them. The people still left alive in every place must bring gifts to the people going. They must provide silver and gold to the people going up to Jerusalem. The people must bring goods and livestock. They should also bring any offerings they choose to. All those gifts will be for God’s temple in Jerusalem.’ ”

Then everyone God had inspired prepared to go. They wanted to go up to Jerusalem and build the Lord’s temple there. They included the family leaders of Judah and Benjamin. They also included the priests and Levites. All their neighbors helped them. They gave them silver and gold objects. They gave them goods and livestock. And they gave them gifts of great value. All those things were added to the other offerings the people chose to give.

King Cyrus also brought out the objects that belonged to the Lord’s temple. Nebuchadnezzar had carried them off from Jerusalem. He had put them in the temple of his own god. Cyrus, the king of Persia, told Mithredath to bring them out. Mithredath was in charge of the temple treasures. He counted those objects. Then he gave them to Sheshbazzar, the prince of Judah.

Here is a list of the objects.

There were 30 gold dishes.

There were 1,000 silver dishes.

There were 29 silver pans.

10 There were 30 gold bowls.

There were 410 matching silver bowls.

There were 1,000 other objects.

11 The total number of gold and silver objects was 5,400.

Sheshbazzar brought all of these back with him to Jerusalem. So Sheshbazzar and the Jews who had been forced to leave Judah came up from Babylon to Jerusalem.