Ezeekyeri 7 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 7:1-27

Enkomerero Etuuse

1Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 27:2 a Am 8:2, 10 b Kub 7:1; 20:8“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:

“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse

ku nsonda ennya ez’ensi.

3Enkomerero ebatuuseeko

era ndibasumulurira obusungu bwange,

ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri

era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.

47:4 Ez 5:11Siribatunuulira na liiso lya kisa

newaakubadde okubasonyiwa;

naye ndibasasula ng’engeri zammwe,

n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’

57:5 2Bk 21:12“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:

“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu

laba kujja.

6Enkomerero etuuse,

enkomerero etuuse!

Ebagolokokeddeko

era ejja.

77:7 Ez 12:23; Zef 1:14Akabi kabajjidde,

mmwe abatuuze.

Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,

olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.

87:8 a Is 42:25; Ez 9:8; 14:19; Nak 1:6 b Ez 20:8, 21; 36:19Nnaatera okubalaga obusungu bwange,

n’ekiruyi kyange.

Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,

ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.

9Siribatunuulira na liiso lya kisa

newaakubadde okubasonyiwa.

Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri

n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.

107:10 Zab 89:32; Is 10:5“ ‘Olunaku luuluno

lutuuse.

Akabi kabajjidde,

obutali bwenkanya bumeze,

n’amalala gamulisizza.

117:11 Yer 16:6; Zef 1:18Obusungu bweyongedde

ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;

tewaliba n’omu alisigalawo;

tewaliba n’omu ku kibiina

newaakubadde ku byobugagga byabwe,

newaakubadde eky’omuwendo.

127:12 nny 7; Is 5:13-14; Ez 30:3Ekiseera kituuse,

n’olunaku lutuuse.

Agula aleme okusanyukirira,

n’oyo atunda aleme okunakuwala,

kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.

137:13 Lv 25:24-28Atunda taliddizibwa

kintu kye yatunda,

bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.

Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna

so tekukyajulukuka.

Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu

aliwonya obulamu bwe.

14“ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere

ne bateekateeka buli kimu,

tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,

kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.

157:15 Ma 32:25; Yer 14:18; Kgb 1:20; Ez 5:12Ebweru waliyo ekitala

ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.

Abali ku ttale

balifa kitala,

abali mu kibuga

balimalibwawo kawumpuli n’enjala.

167:16 a Is 59:11 b Ezr 9:15; Ez 6:8N’abo abaliwonawo

baliddukira mu nsozi,

nga bakaaba nga bukaamukuukulu

obw’omu biwonvu,

buli omu olw’ebibi bye.

177:17 Is 13:7; Ez 21:7; 22:14Emikono gyonna giriremala,

n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.

187:18 a Zab 55:5 b Is 15:2-3; Ez 27:31; Am 8:10Balyambala ebibukutu,

ne bakwatibwa ensisi;

baliswala,

n’emitwe gyabwe girimwebwa.

197:19 a Ez 13:5; Zef 1:7, 18 b Ez 14:3 c Nge 11:4“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,

ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;

effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe

tebiriyinza kubalokola

ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.

Era tebalikkuta

newaakubadde okukkusibwa.

Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.

207:20 Yer 7:30Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,

era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo

n’ebintu ebirala eby’ekivve,

era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.

217:21 2Bk 24:13Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga

n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago

era balibyonoona.

227:22 Ez 39:23-24Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,

era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;

n’abanyazi balikiyingiramu

ne bakyonoona.

237:23 2Bk 21:16“ ‘Muteeketeeke enjegere

kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,

n’ekibuga kijjudde effujjo.

247:24 a Ez 24:21 b 2By 7:20; Ez 28:7Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,

ne batwala ennyumba zaabwe,

era ndikomya amalala gaabwe

n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.

257:25 Ez 13:10, 16Entiisa bw’erijja,

balinoonya emirembe naye tebaligifuna.

267:26 a Yer 4:20 b Is 47:11; Ez 20:1-3; Mi 3:6Akabi kalyeyongera ku kabi,

ne ŋŋambo ne zeeyongera;

balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,

naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula

n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.

277:27 a Zab 109:19; Ez 26:16 b Ez 18:20 c nny 4Kabaka alikaaba,

n’omulangira alijjula obuyinike,

n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.

Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,

era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.

Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Korean Living Bible

에스겔 7:1-27

이스라엘의 종말이 가까웠다

1여호와께서 나에게 말씀하셨다.

2“사람의 아들아, 나 주 여호와가 이스 라엘 땅에 대하여 말한다. ‘이제 이 땅 사방에 종말이 오고 말았다!

3이스라엘아, 이제 너에게 끝이 이르렀으니 내가 너에게 내 분노를 쏟고 네 행위에 따라 너를 심판하여 너의 모든 더러운 행동에 대하여 갚아 주겠다.

4내가 너를 아끼거나 불쌍히 여기지 않을 것이며 네가 행한 더러운 행위대로 너를 벌할 것이니 네가 나를 여호와인 줄 알 것이다.’ ”

5주 여호와께서 다시 말씀하셨다. “재앙이다! 전에 들어 보지 못한 재앙이다.

6끝났다! 종말이 너에게 이르렀으니 너는 끝장이다!

7이 땅에 사는 백성들아, 너희 운명의 날이 왔다. 환난의 날이 닥쳤으므로 산에서 즐겁게 외칠 때가 아니다.

8이제 내가 분노를 너희에게 쏟아 분풀이를 하고 너희 행위대로 너희를 심판하여 더러운 너희 모든 행동에 대하여 갚아 주겠다.

9내가 너희를 아끼거나 불쌍히 여기지 않을 것이며 너희가 행한 더러운 행위대로 너희를 벌할 것이니 너희를 치는 자가 나 여호와임을 너희는 알게 될 것이다.

10“보라, 그 날이다! 너희 운명의 날이 이르렀으니 몽둥이에 꽃이 피고 교만에 싹이 났다.

11폭력이 죄악을 벌하는 몽둥이가 되었으니 백성과 재물과 그들의 소중한 것이 하나도 남지 않을 것이다.

12운명의 날이 이르고 그 때가 가까웠다. 사는 자도 기뻐하지 말고 파는 자도 슬퍼하지 말아라. 진노의 형벌이 모든 자에게 내릴 것이다.

13사고 판 자가 다 살아 있을지라도 판 자가 그 판 것을 다시 살 수 없을 것이다. 이것은 모든 사람들에게 예언한 재앙이 그대로 내려 죄 때문에 생명을 보존할 자가 없을 것이기 때문이다.

14그들이 나팔을 불고 모든 것을 준비하여도 전쟁에 나갈 사람이 없을 것이니 내 진노가 그 모든 사람들에게 내릴 것이기 때문이다.

15“밖에는 칼이 있고 안에는 질병과 굶주림이 있으니 성 밖에 있는 자는 칼날에 죽고 성 안에 있는 자는 굶주림과 질병으로 죽을 것이다.

16살아서 산으로 도망하는 자들은 골짜기의 비둘기처럼 숨어서 자기 죄 때문에 슬퍼할 것이며

17모든 사람의 손이 힘이 없어 축 늘어지고 모든 사람의 무릎이 물처럼 약해질 것이다.

18그들은 굵은 삼베 옷을 걸치고 공포에 사로잡힐 것이며 수치로 얼굴을 들지 못하고 머리를 민 채 탄식할 것이다.

19그들이 은과 금을 쓰레기처럼 거리에 던질 것이다. 이것은 나 여호와가 진노를 쏟을 때에 그 은과 금이 그들을 구원하지 못하며 그들을 만족시키거나 그들의 굶주린 배를 채워 주지 못하고 오히려 죄 짓게 하는 장애물이 될 것이기 때문이다.

20그들이 아름다운 보석 때문에 교만한 마음을 품었고 그것으로 지긋지긋한 우상을 만들었으므로 내가 이것을 그들에게 더러운 물건이 되게 할 것이다.

21내가 외국인들과 세상의 악인들에게 그것을 약탈해 가게 하고 내 성전을 더럽히게 할 것이다.

22그들이 강도처럼 들어와서 내 성전을 더럽히고 성전 보물을 약탈해 가도 내가 거들떠보지 않을 것이다.

23“너는 쇠사슬을 만들어라. 이 땅에는 살인자가 가득하고 성 안에는 폭력이 난무하고 있다.

24내가 가장 악한 민족으로 그들의 집을 소유하게 하고 강한 자의 교만을 꺾어 버릴 것이니 그들의 성소가 더럽힘을 당할 것이다.

25무서운 일이 밀어닥치면 그들이 평안을 찾아도 얻을 수 없을 것이다.

26재앙에 재앙이 덮치고 불길한 소문이 끝없이 나돌 때에 그들은 예언자들에게 환상을 구할 것이다. 그러나 제사장들에게는 백성들에게 가르칠 율법이 없을 것이며 장로들에게는 조언해 줄 말이 없을 것이다.

27왕은 애통하고 대신들은 절망에 빠질 것이며 백성들은 두려워서 떨 것이다. 내가 그들이 행한 대로 그들을 벌하고 그들이 심판하는 기준에 따라 그들을 심판할 것이니 그들이 나를 여호와인 줄 알 것이다.”