Ezeekyeri 6 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 6:1-14

Obubaka eri Ensozi za Isirayiri

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti, 26:2 Ez 36:1“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, 36:3 a Ez 36:4 b Lv 26:30oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. 46:4 2By 14:5Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. 56:5 Yer 8:1-2Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. 66:6 a Mi 1:7; Zek 13:2 b Lv 26:30 c Is 6:11; Ez 5:14Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. 7Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.

86:8 a Yer 44:28 b Is 6:13; Yer 44:14; Ez 12:16; 14:22“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. 96:9 a Zab 78:40; Is 7:13 b Ez 20:7, 24 c Ez 20:43; 36:31Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

116:11 Ez 5:12; 21:14, 17; 25:6“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 126:12 Ez 5:12Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. 136:13 a Is 57:5 b 1Bk 14:23; Yer 2:20; Ez 20:28; Kos 4:13Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. 146:14 a Is 5:25 b Ez 14:13Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Korean Living Bible

에스겔 6:1-14

우상 숭배에 대한 책망

1-2여호와께서는 이스라엘 산들을 향하여 이렇게 예언하라고 나에게 말씀하셨다.

3“이스라엘 산들아, 주 여호와의 말씀을 들어라. 주 여호와께서 높고 낮은 산들과 강 유역과 골짜기에 대하여 이런 말씀을 하셨다. ‘내가 칼을 너희에게 보내 너희 산당을 없애 버리겠다.

4너희 제단은 무너지고 너희 6:4 또는 ‘태양상이 파괴될 것이며’분향단은 파괴될 것이며 모든 백성이 너희 우상 앞에서 죽음을 당할 것이다.

5내가 이스라엘 백성의 시체를 그 우상 앞에 두고 그 뼈를 너희 제단 사방에 흩어 버릴 것이다.

6너희가 사는 곳마다 성들이 황폐해지고 산당이 무너지며 너희 제단과 우상들이 박살나고 너희 분향단이 깨어지고 너희가 만든 모든 것이 없어질 것이다.

7너희 백성들이 곳곳에서 죽음을 당할 것이니 너희가 나를 여호와인 줄 알게 될 것이다.

8“ ‘그러나 나는 너희 중 일부가 칼날을 피해 세계 각처로 흩어지게 하겠다.

9너희 중에 칼날을 피한 자들이 포로로 사로잡혀간 나라에서 나를 기억할 것이며 자기들이 음란한 마음으로 나를 떠나고 나보다 우상을 더 좋아하고 섬겼기 때문에 내가 그들을 벌하고 부끄럽게 한 것을 알고 한탄하며 자기들이 행한 악과 더러운 일에 대해서 자신들을 증오할 것이다.

10그제서야 그들은 내가 여호와인 것과 내가 이런 재앙을 그들에게 내리겠다고 경고한 말이 헛된 것이 아님을 알게 될 것이다.’ ”

11주 여호와께서 또 말씀하셨다. “너는 손뼉을 치고 발을 구르며 이스라엘 백성이 더럽고 추한 악을 행하였으므로 전쟁과 기근과 질병으로 망할 것이라고 말하라.

12먼 데 있는 자들은 질병으로 죽고 가까이 있는 자들은 전쟁에 죽고 살아 남은 자들은 굶어서 죽을 것이다. 이와 같이 내가 분노를 그들에게 쏟아 버리겠다.

13죽음을 당한 자들의 시체가 우상들 사이와 제단 사방과 모든 산꼭대기와 높은 고개와 모든 푸른 나무 아래와 상수리나무 아래와 그들이 우상에게 제사지내던 모든 곳에 흩어질 것이며 그제서야 모든 사람이 나를 여호와인 줄 알 것이다.

14내가 손을 들어 그들을 치고 남쪽 광야에서부터 북쪽 6:14 또는 ‘디블라’리블라까지 그들의 땅을 모조리 황폐하게 할 것이니 그들이 나를 여호와인 줄 알 것이다.”