Ezeekyeri 37 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 37:1-28

Ekiwonvu eky’Amagumba Amakalu

137:1 a Ez 1:3; 8:3 b Ez 11:24; Luk 4:1; Bik 8:39 c Yer 7:32 d Yer 8:2; Ez 40:1Omukono gwa Mukama gwali ku nze, Mwoyo wa Mukama n’anfulumya, n’andeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. 2N’agannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu. 337:3 Ma 32:39; 1Sa 2:6; Is 26:19N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?”

Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gw’omanyi.”

437:4 Yer 22:29Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama! 537:5 Lub 2:7; Zab 104:29-30Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. 637:6 Ez 38:23; Yo 2:27; 3:17Ndibateekako ebinywa n’ennyama ne mbabikkako n’olususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”

7Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng’ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo. 8Ne ntunula, ebinywa n’ennyama ne birabika ku go, n’olususu ne luddako, naye temwali mukka. 937:9 Zab 104:30Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana w’omuntu, ogambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ” 1037:10 Kub 11:11Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.

1137:11 Kgb 3:54Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era n’essuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’ 1237:12 Ma 32:39; 1Sa 2:6; Is 26:19; Kos 13:14; Am 9:14-15Kyonoova owa obunnabbi gye bali n’oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri. 13Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza. 1437:14 a Yo 2:28-29 b Ez 36:27-28, 36Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze Mukama nkyogedde, era nkikoze, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Eggwanga Limu Lifugibwa Kabaka Omu

15Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1637:16 a 1Bk 12:20; 2By 10:17-19 b Kbl 17:2-3; 2By 15:9“Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’ 1737:17 nny 24; Is 11:13; Yer 50:4; Kos 1:11Bagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo.

1837:18 Ez 24:19“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’ 1937:19 Zek 10:6Obategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’ 20Balage emiggo gy’owandiiseeko, 2137:21 Is 43:5-6; Ez 36:24; 39:27obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. 2237:22 Is 11:13; Yer 3:18Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. 2337:23 a Ez 36:25; 43:7 b Ez 11:18; 36:28Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. 

2437:24 a Kos 3:5 b Is 40:11 c Zab 78:70-71“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. 2537:25 a Ez 28:25 b Am 9:15 c Is 11:1Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. 2637:26 a Is 55:3 b Yer 30:19 c Ez 16:62Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. 2737:27 a Lv 26:11; Yk 1:14 b 2Ko 6:16*Ekifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. 2837:28 Kuv 31:13Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

New Russian Translation

Иезекииль 37:1-28

Долина сухих костей

1Рука Господа была на мне. Он вывел меня Духом Господа и поставил посреди долины; она была полна костей. 2Он повел меня посреди них, и я увидел великое множество костей, лежавших в долине, и они были очень сухими. 3Он спросил меня:

– Сын человеческий, могут ли эти кости ожить?

Я ответил:

– Владыка Господи, это знаешь Ты один.

4Тогда Он сказал мне:

– Пророчествуй этим костям и скажи им: «Сухие кости, слушайте слово Господа! 5Так говорит этим костям Владыка Господь: Я пошлю в вас дыхание37:5 Или: «дух»; или: «ветер»; также в ст. 6–14., и вы оживете. 6Я прилажу к вам сухожилия, наращу на вас плоть и покрою кожей; Я вложу в вас дыхание, и вы оживете. Тогда вы узнаете, что Я – Господь».

7Я стал пророчествовать, как мне было велено. Когда я пророчествовал, раздался шум, постукивание, и кости начали сходиться – кость с костью. 8Я видел, как на них появились сухожилия и плоть, и как их покрыла кожа, но в них не было дыхания. 9Тогда Он сказал мне:

– Пророчествуй дыханию. Пророчествуй, сын человеческий, и скажи ему: «Так говорит Владыка Господь: Приди с четырех ветров, о дыхание, и вдохни в этих убитых, чтобы они ожили».

10Я начал пророчествовать, как Он повелел мне, и в них вошло дыхание. Они ожили и встали на ноги, это несметное войско. 11Тогда Он сказал мне:

– Сын человеческий, эти кости – весь дом Израиля. Они говорят: «Наши кости высохли, и надежда исчезла. С нами покончено». 12Поэтому пророчествуй и скажи им: «Так говорит Владыка Господь: Мой народ, Я открою ваши могилы и подниму вас из них. Я приведу вас в землю Израиля. 13И вы, Мой народ, узнаете, что Я – Господь, когда Я открою ваши могилы и выведу вас из них. 14Я вложу в вас Моего Духа37:14 Или: «Мое дыхание». и вы будете жить, а Я поселю вас в вашей земле. Тогда вы узнаете, что Я, Господь, сказал это и исполнил», – возвещает Господь.

Один народ и один царь

15Было ко мне слово Господне:

16– Сын человеческий, возьми деревянный брусок и напиши на нем: «Иудея и израильтяне, что с ней в союзе». Потом возьми другой брусок и напиши на нем: «Брусок Ефрема, что принадлежит Иосифу и всему дому Израиля, что с ним в союзе». 17Приложи их один к другому, чтобы у тебя в руке они стали единым целым.

18Когда твои соплеменники спросят тебя: «Не объяснишь ли нам, что это значит?» – 19скажи им: Так говорит Владыка Господь: «Я возьму брусок Иосифа и израильских родов, что с ним в союзе (он в руке Ефрема), и приложу к бруску Иудеи, сделав из них один брусок, и в Моей руке они станут единым целым». 20Держи перед глазами бруски, на которых ты сделал надпись, 21и скажи им: «Так говорит Владыка Господь: Я выведу израильтян из народов, к которым они ушли, соберу их отовсюду и приведу в их землю. 22В этой земле, на горах Израиля, Я сделаю их одним народом. У них будет один Царь, и они не будут больше двумя народами и не разделятся больше на два царства. 23Впредь они не станут оскверняться ни идолами, ни гнусными истуканами, ни другими своими преступлениями. Я спасу их из всех жилищ, где они грешили37:23 Во многих рукописях еврейского текста и в одном из древних переводов: «Я спасу их от их отступничества, в которое они впали»., и очищу их. Они будут Моим народом, а Я буду их Богом.

24Их царем станет Мой слуга Давид, и у всех у них будет один пастух. Они будут следовать Моим законам и бережно исполнять Мои установления. 25Они будут жить в земле, которую Я отдал Моему слуге Иакову, в земле, где жили их предки. Они сами, их дети и дети детей будут жить там вечно, и Мой слуга Давид навеки будет их правителем. 26Я заключу с ними завет мира; этот завет будет вечным. Я утвержу их на их земле и умножу их число. Я поставлю Мое святилище среди них навеки. 27У них будет Мое жилище. Я буду их Богом, а они будут Моим народом. 28И народы узнают, что Я, Господь, освящаю Израиль, когда Мое святилище встанет среди них навеки».