Ezeekyeri 35 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 35:1-15

Obunnabbi ku Edomu

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2“Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, 335:3 a Yer 6:12 b Ez 25:12-14oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. 435:4 nny 9Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’

535:5 Zab 137:7; Ez 21:29“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, 635:6 Is 63:2-6nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. 7Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. 835:8 Ez 31:12Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. 935:9 Yer 49:13Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.

1035:10 Zab 83:12; Ez 36:2, 5“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, 1135:11 a Ez 25:14 b Zab 9:16; Mat 7:2era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. 1235:12 Yer 50:7Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” 1335:13 Dan 11:36Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. 1435:14 Yer 51:48Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. 1535:15 a Ob 12 b nny 3 c Is 34:5-6, 11; Yer 50:11-13; Kgb 4:21Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Bibelen på hverdagsdansk

Ezekiels Bog 35:1-15

Dom over Edom

1Herren sagde til mig: 2„Du menneske, ret blikket mod Seirs bjerg og profetér imod Edoms folk:

3Jeg er imod jer, Seirs stolte bjerge. Jeg løfter min hånd for at straffe jer og gøre jeres land til en ødemark. 4Jeg jævner jeres byer med jorden og lægger hele landet øde, så I kan forstå, at jeg er Herren.

5I har altid hadet mit folk, Israel. I overfaldt dem og sablede dem ned, dengang jeg var nødt til at straffe dem. 6Så sandt jeg lever, siger Herren: I elsker at se blod, og I skal få blod at se, for nu kommer turen til jer. 7Jeg gør Seirs bjerge til ødemark og udrydder folket, som færdes der. 8Jeg sørger for, at bjergsider, dale og vandløb bliver fyldt med lig. 9Landet bliver en ødemark for evigt, og ingen skal bo i byerne igen. Da skal I indse, at jeg er Herren.

10I rykkede ud mod Israel og Juda for at erobre dem, selvom I vidste, at jeg var deres Gud. 11Så sandt jeg lever, vil jeg straffe jer på grund af jeres vrede, had og jalousi, og I skal erkende, at det er mig, Herren, som griber ind og dømmer jer. 12Da skal I indse, at jeg hørte hvert eneste hånende ord, I udtalte imod Israels bjerge, da I mente, at de lå øde hen, og at I derfor havde ret til at besætte dem. 13I hånede mig med de mange ord, I udtalte imod mig. Men jeg hørte det alt sammen.

14Gud Herren siger: Hele verden vil fryde sig over jeres undergang. 15I frydede jer over Israels sørgelige skæbne. Nu er det min tur til at fryde mig over jeres, for I vil blive udryddet, alle I folk i Seirs bjerge og i hele Edom. Da skal I indse, at jeg er Herren.