Ezeekyeri 32 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 32:1-32

Okukungubagira Falaawo

132:1 Ez 31:1; 33:21Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 232:2 a Ez 19:1; 27:2 b Ez 19:3, 6; Nak 2:11-13 c Ez 29:3; 34:18“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:

“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,

ng’ogusota wakati mu nnyanja,

ng’owaguza mu migga gyo,

era ng’otabangula amazzi,

n’osiikuula n’emigga.

332:3 Ez 12:13“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,

ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,

era balikuvuba n’akatimba kange.

432:4 Is 18:6; Ez 31:12-13Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,

era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,

n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya

ne zikkusibwa.

532:5 Ez 31:12Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,

era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.

632:6 Is 34:3Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo

okutuukira ddala ku nsozi,

era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.

732:7 Is 13:10; 34:4; Ez 30:3; Yo 2:2, 31; 3:15; Mat 24:29; Kub 8:12Bwe ndikusaanyaawo,

ndibikka eggulu

ne nfuula emmunyeenye zaakwo

okubaako ekizikiza;

8Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.

Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza;

era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.

9Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi,

bwe ndikuzikiriza mu mawanga,

ne mu nsi z’otomanyangako.

1032:10 a Yer 46:10 b Ez 26:16; 27:35Amawanga mangi galijjula entiisa

era bakabaka baabwe balisasamala,

ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe.

Ku lunaku olw’okugwa kwo,

buli omu ku bo alikankana,

era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.

1132:11 Yer 46:26“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni

kirikutabaala.

1232:12 a Ez 28:7 b Ez 31:11-12Nditta enkuyanja y’abantu bo

n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira,

abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna.

Balimalawo amalala ga Misiri,

n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.

1332:13 Ez 29:8, 11Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente

okuva awali amazzi amangi,

era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula

newaakubadde ente okulinnyirirayo.

14N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge,

n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta,

bw’ayogera Mukama Katonda.

1532:15 Kuv 7:5; 14:4, 18; Zab 107:33-34; Ez 6:7Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri,

ne ngiggyamu buli kantu akalimu,

ne nzita bonna ababeeramu,

balimanya nga nze Mukama.’

1632:16 2Sa 1:17; 2By 35:25; Ez 26:17“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.

1732:17 nny 1Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1832:18 a Yer 1:10 b Ez 31:14, 16; Mi 1:8“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. 1932:19 nny 29-30; Ez 28:10; 31:18Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ 2032:20 Zab 28:3Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. 2132:21 Is 14:9Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ 

22“Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. 2332:23 Is 14:15Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.

2432:24 a Lub 10:22 b Yer 49:37 c Yob 28:13 d Ez 26:20“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. 25Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.

2632:26 Lub 10:2; Ez 27:13“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. 27Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.

28“Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.

2932:29 a Is 34:5-15; Yer 49:7; Ez 35:15; Ob 1 b Ez 25:12-14“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.

3032:30 a Yer 25:26; Ez 38:6; 39:2 b Yer 25:22; Ez 28:21“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.

3132:31 Ez 14:22; 31:16“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. 32Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”