Ezeekyeri 31 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 31:1-18

Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni

131:1 a Yer 52:5 b Ez 30:20Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2“Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,

“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?

331:3 Is 10:34Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,

nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;

ogwali omuwanvu ennyo,

nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.

4Amazzi gaaguliisanga,

n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,

n’emigga gyagyo

ne gigwetooloola wonna,

ne giweerezanga n’amatabi gaagyo

eri emiti gyonna egy’omu ttale.

531:5 Ez 17:5Kyegwava gukula ne guwanvuwa

okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,

n’amatabi gaagwo amanene

ne geeyongera obunene,

n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa

ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.

631:6 Ez 17:23; Mat 13:32Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga

ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,

n’ensolo enkambwe ez’oku ttale

ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,

n’amawanga gonna amakulu

ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.

7Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,

n’amatabi gaagwo amanene,

kubanga emirandira gyagwo

gyasima awali amazzi amangi.

831:8 a Zab 80:10 b Lub 2:8-9Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda

tegyayinza kuguvuganya,

newaakubadde emiberoosi okwenkana

n’amatabi gaagwo amanene;

n’emyalamooni nga tegifaanana

matabi gaagwo amatono,

so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda

ogugwenkana mu bulungi.

931:9 a Lub 2:8 b Lub 13:10; Ez 28:13Nagulungiya n’amatabi amangi,

emiti gyonna egy’omu Adeni

egyali mu nnimiro ya Katonda

ne gigukwatirwa obuggya.

1031:10 Is 14:13-14; Ez 28:17“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 1131:11 Dan 5:20kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 1231:12 a Ez 28:7 b Ez 32:5; 35:8 c Ez 32:11-12; Dan 4:14Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 1331:13 Is 18:6; Ez 29:5; 32:4Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 1431:14 a Zab 82:7 b Zab 63:9; Ez 26:20; 32:24Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.

15“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 1631:16 a Ez 26:15 b Is 14:8 c Ez 14:22; 32:31 d Is 14:15; Ez 32:18Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 1731:17 Zab 9:17Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.

1831:18 Yer 9:26; Ez 32:19, 21“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”