Ezeekyeri 30 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 30:1-26

Okukungubagira Misiri

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 230:2 Is 13:6“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,

“Zibasanze ku lunaku olwo”

330:3 a Ez 7:7; Yo 2:1, 11; Ob 15 b nny 18; Ez 7:12, 19kubanga olunaku luli kumpi,

olunaku lwa Mukama luli kumpi,

olunaku olw’ebire

eri bannaggwanga.

430:4 Ez 29:19Ekitala kirirumba Misiri,

n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.

Bwe balifiira mu Misiri,

obugagga bwe bulitwalibwa

n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

530:5 a Ez 27:10 b Yer 25:20Obuwesiyopya, ne Puuti30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

630:6 Ez 29:10“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Abawagira Misiri baligwa,

n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.

Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene

baligwa n’ekitala,

bw’ayogera Mukama Katonda.

730:7 Ez 29:12Balirekebwawo

wakati mu nsi endala ezalekebwawo,

n’ebibuga byabwe

biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.

8Olwo balimanya nga nze Mukama

bwe ndikuma ku Misiri omuliro,

n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

930:9 a Is 18:1-2 b Is 23:5 c Ez 32:9-10“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

1030:10 Ez 29:19“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri

nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

1130:11 Ez 28:7Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,

balireetebwa okuzikiriza ensi.

Baligyayo ebitala byabwe

ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.

1230:12 a Is 19:6 b Ez 29:9Ndikaza emigga gya Kiyira,

ne ntunda ensi eri abantu ababi;

nga nkozesa bannaggwanga,

ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

Nze Mukama nkyogedde.

1330:13 a Yer 43:12 b Is 19:13 c Zek 10:11“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe

ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.

Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,

era ensi yonna ndigireetako entiisa.

1430:14 a Ez 29:14 b Zab 78:12, 43 c Yer 46:25Ndifuula Pasulo okuba amatongo,

ne Zowani ndikikumako omuliro

ne mbonereza n’ab’omu No.

15Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,

ekigo kya Misiri eky’amaanyi,

era ndimalawo n’ebibinja bya No.

16Ndikuma omuliro ku Misiri,

ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,

ne No balitwalibwa omuyaga,

ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.

1730:17 Lub 41:45Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi

baligwa n’ekitala,

n’ebibuga biriwambibwa.

1830:18 a Lv 26:13 b nny 3Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,

bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,

era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.

Alibikkibwa n’ebire

era n’ebyalo bye biriwambibwa.

19Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,

bategeere nga nze Mukama.’ ”

2030:20 Ez 26:1; 29:17; 31:1Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2130:21 a Yer 48:25 b Yer 30:13; 46:11“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 2230:22 a Yer 46:25 b Zab 37:17Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 2330:23 Ez 29:12Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 2430:24 a Zek 10:6, 12 b Ez 21:14; Zef 2:12Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 2630:26 Ez 29:12Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”