Ezeekyeri 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 3:1-27

1Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” 2Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya.

33:3 a Yer 15:16 b Zab 19:10; Kub 10:9-10N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.

4Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. 53:5 Is 28:11; Yon 1:2Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, 63:6 Mat 11:21-23so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. 73:7 Ez 2:4; Yk 15:20-23Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. 83:8 Yer 1:18Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. 93:9 Is 50:7; Ez 2:6; Mi 3:8Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” 10N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. 113:11 Ez 2:4-5, 7Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”

123:12 Ez 8:3; Bik 8:39Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.” 133:13 Ez 1:24; 10:5, 16-17Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi. 14Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze. 153:15 a Zab 137:1 b Yob 2:13Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.

Okulabula Isirayiri

163:16 Yer 42:7Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 173:17 Is 52:8; Yer 6:17; Ez 33:7-9“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 183:18 nny 20; Ez 33:6Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 193:19 2Bk 17:13; Ez 14:14, 20; Bik 18:6; 20:26; 1Ti 4:14-16Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.

203:20 Zab 125:5; Ez 18:24; 33:12, 18“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 213:21 Bik 20:31Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

223:22 a Ez 1:3 b Bik 9:6 c Ez 8:4Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 233:23 a Ez 1:1 b Ez 1:28Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.

243:24 Ez 2:2Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 253:25 Ez 4:8Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 263:26 Ez 2:5; 24:27; 33:22Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 273:27 a nny 11 b Ez 12:3; 24:27; 33:22Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”