Ezeekyeri 29 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 29:1-21

Obunnabbi eri Misiri

129:1 nny 17; Ez 26:1Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 229:2 a Yer 25:19 b Is 19:1-17; Yer 46:2; Ez 30:1-26; 31:1-18; 32:1-32“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. 329:3 a Yer 44:30 b Zab 74:13; Is 27:1; Ez 32:2Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,

ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,

ogwogera nti, “Kiyira wange,

era nze nnamwekolera.”

429:4 a 2Bk 19:28 b Ez 38:4Nditeeka amalobo mu mba zo,

era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.

Ndikusikayo mu migga gyo

ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.

529:5 Yer 7:33; 34:20; Ez 32:4-6; 39:4Ndikutwala mu ddungu,

ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.

Oligwa ku ttale,

so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.

Ndikuwaayo okuba emmere

eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.

629:6 2Bk 18:21; Is 36:6Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. 729:7 a Is 36:6 b Ez 17:15-17Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.

829:8 Ez 14:17; 32:11-13“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. 929:9 Ez 30:7-8, 13-19Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 1029:10 Ez 30:6kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 1129:11 Ez 32:13Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 1229:12 Yer 46:19; Ez 30:7, 23, 26Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13“ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 1429:14 a Ez 30:14 b Ez 17:14era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 1529:15 Zek 10:11Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 1629:16 a Is 36:4, 6 b Is 30:2; Kos 8:13Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”

1729:17 Ez 24:1Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1829:18 a Yer 27:6; Ez 26:7-8 b Yer 48:37“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 1929:19 Yer 43:10-13; Ez 30:4, 10, 24-25Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 2029:20 Is 10:6-7; 45:1; Yer 25:9Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

2129:21 a Zab 132:17 b Ez 33:22 c Ez 24:27“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe29:21 Ejjembe wano kitegeeza amaanyi ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 29:1-21

预言审判埃及

1第十年十月十二日,耶和华对我说: 2“人子啊,你要说预言斥责埃及王法老和埃及全国, 3你要告诉他,主耶和华这样说,

“‘埃及王法老啊,

你这躺卧在自己河中的大怪物,

我要与你为敌。

你说这尼罗河属于你,

是你为自己造的。

4但我要钩住你的腮,

使河中的鱼贴在你的鳞甲上,

把你连同贴在你鳞甲上的鱼一起从河中拉上来,

5丢弃在旷野。

你必暴尸野外,无人收殓。

我要让你成为野兽和飞鸟的食物。

6“‘这样,所有的埃及人就知道我是耶和华,因为你不过是一根芦苇,以色列人无法依靠你。 7当他们用手握住你的时候,你就断裂,刺伤了他们的肩;当他们倚靠你的时候,你就折断,闪了他们的腰。

8“‘因此,主耶和华说,看啊,我要使刀剑临到你,消灭你的人畜, 9使埃及一片荒凉。这样,他们就知道我是耶和华。因为你说这尼罗河属于你,是你造的。 10因此,我要攻击你和你的河流,使埃及密夺色弗尼,一直到古实的边界全都荒废。 11四十年之内,这里必无人居住,人兽踪迹灭绝。 12我必使埃及成为荒地中的荒地,让埃及的城邑沦为废墟中的废墟,长达四十年。我要将埃及人驱散到列国,分散到列邦。’

13“主耶和华说,‘四十年之后,我要把分散的埃及人从各国聚集起来。 14我要把被掳的埃及人带回来,使他们回到故土巴特罗,成为一个卑微的国家, 15在列国中最衰微,再也不能雄居列国之上。我要使埃及国势衰弱,再也不能统治列国。 16埃及不再是以色列人的指望,反而会使以色列人想起自己投靠埃及的罪。这样,他们便知道我是主耶和华。’”

17第二十七年一月一日,耶和华对我说: 18“人子啊,巴比伦尼布甲尼撒派兵苦攻泰尔,以致士兵的头都秃了,肩也破了,却是徒劳无功。 19所以主耶和华说,‘我要把埃及赐给巴比伦尼布甲尼撒,他必掳掠埃及的财富为战利品,犒赏自己的军队。 20他和他的军队为我效力,所以我把埃及赐给他作为酬劳。’这是主耶和华说的。

21“到那天,我必复兴以色列29:21 我必复兴以色列”希伯来文是“我必使一只角从以色列兴起”。,使你以西结在他们当中开口说话,这样他们就知道我是耶和华。”