Ezeekyeri 28 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 28:1-26

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 228:2 a Is 14:13 b Zab 9:20; 82:6-7; Is 31:3; 2Bs 2:4“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,

‘Ndi katonda,

era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’

songa oli muntu buntu, so si katonda,

newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.

328:3 Dan 1:20; 5:11-12Oli mugezi okusinga Danyeri?

Tewali kyama kikukwekeddwa?

428:4 Zek 9:3Mu magezi go ne mu kutegeera kwo

weefunidde eby’obugagga,

n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza

n’obitereka mu mawanika go.

528:5 Yob 31:25; Zab 52:7; 62:10; Kos 12:8; 13:6Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi

oyongedde okugaggawala,

era n’omutima gwo

gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”

6Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,

ng’oli mugezi nga katonda,

728:7 Ez 30:11; 31:12; 32:12; Kbk 1:6kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,

ab’omu mawanga agasinga obukambwe,

ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,

ne boonoona okumasamasa kwo.

828:8 a Ez 32:30 b Ez 27:27Balikusuula mu bunnya

n’ofiira eyo okufa okubi

wakati mu gayanja.

9Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’

mu maaso gaabo abakutta?

Oliba muntu buntu so si katonda

mu mikono gy’abo abakutta.

1028:10 Ez 31:18; 32:19, 24Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,

nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”

11Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 1228:12 a Ez 19:1 b Ez 27:2-4“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi

era nga watuukirira mu bulungi.

1328:13 a Lub 2:8 b Ez 31:8-9 c Ez 27:16Wali mu Adeni,

ennimiro ya Katonda;

buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,

sadio, topazi, alimasi, berulo,

onuku, yasipero, safiro,

ejjinja erya nnawandagala.

Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.

Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.

1428:14 a Kuv 30:26; 40:9 b Kuv 25:17-20Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,

nakwawula lwa nsonga eyo.

Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,

n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.

15Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna

okuva ku lunaku lwe watondebwa,

okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.

1628:16 a Kbk 2:17 b Lub 3:24Mu bikolwa byo ebingi,

wajjula empisa embi,

era n’okola ebibi.

Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,

mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga

okuva mu mayinja ag’omuliro.

1728:17 Ez 31:10Omutima gwo gwalina amalala

olw’obulungi bwo,

ne weelimbalimba

olw’ekitiibwa kyo.

Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula

eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.

1828:18 Mal 4:3Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo

oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.

Kyenava nziggya omuliro mu ggwe

ne gukusaanyaawo,

ne nkufuula evvu ku nsi

wakati mu abo bonna abaakulabanga.

1928:19 Yer 51:64; Ez 26:21; 27:36Amawanga gonna agaakumanya

gaatya nnyo;

otuuse ku nkomerero embi,

so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Obunnabbi eri Sidoni

20Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2128:21 a Ez 6:2 b Lub 10:15; Yer 25:22“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 2228:22 a Ez 39:13 b Ez 30:19oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,

era ndyegulumiza mu ggwe.

Balimanya nga nze Mukama

bwe ndimubonereza,

ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.

2328:23 Ez 38:22Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa

omusaayi mu nguudo ze.

Abafu baligwa wakati mu ye,

ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.

Olwo balimanya nga nze Mukama.

2428:24 Kbl 33:55; Yos 23:13; Ez 2:6“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.

2528:25 a Zab 106:47; Yer 32:37 b Is 11:12 c Ez 20:41 d Yer 23:8; Ez 11:17; 34:27; 37:25“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 2628:26 a Yer 23:6 b Is 65:21; Yer 32:15; Ez 38:8; Am 9:14-15Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”