Ezeekyeri 27 – LCB & BPH

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 27:1-36

Okukungubagira Ttuulo

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2“Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 327:3 a nny 33 b Ez 28:2Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,

“Natuukirira mu bulungi.”

4Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,

era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.

527:5 Ma 3:9Baakola embaawo zo zonna

mu miberosi gya Seniri,

ne baddira emivule egy’e Lebanooni

ne bakolamu omulongooti.

627:6 a Kbl 21:33; Yer 22:20; Zek 11:2 b Lub 10:4; Is 23:12Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,

n’emmanga zo, bazikola mu nzo,

ez’oku bizinga ebya Kittimu,

nga bazaaliiridde n’amasanga.

727:7 Kuv 25:4; Yer 10:9Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,

era lyakozesebwanga ebendera;

n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu

ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.

827:8 a Lub 10:18 b 1Bk 9:27Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,

n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.

927:9 Yos 13:5; 1Bk 5:18Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,

era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;

ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;

nga bagula ebyamaguzi byo.

1027:10 a Ez 38:5 b Ez 30:5“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya,

baali mu ggye lyo,

era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo

ne bakuwa ekitiibwa.

11Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe

be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;

abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo

nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,

era be baakulabisanga obulungi.

1227:12 a Lub 10:4 b nny 18, 33“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

1327:13 a Lub 10:2; Is 66:19; Ez 38:2 b Kub 18:13“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

1427:14 Lub 10:3; Ez 38:6“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

1527:15 a Lub 10:7 b Yer 25:22 c 1Bk 10:22; Kub 18:12“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

1627:16 a Bal 10:6; Is 7:1-8 b Ez 28:13“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

1727:17 Bal 11:33“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

1827:18 Lub 14:15; Ez 47:16-18“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20“ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

2127:21 Lub 25:13; Is 60:7“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

2227:22 a Lub 10:7, 28; 1Bk 10:1-2; Is 60:6 b Lub 43:11“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

2327:23 a 2Bk 19:12 b Is 37:12“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25“ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi

bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.

Era wajjula n’oba n’ebintu bingi

wakati mu nnyanja.

2627:26 Zab 48:7; Yer 18:17Abakubi b’enkasi bakutwala

awali amayengo amangi.

Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera

wakati mu nnyanja.

2727:27 Nge 11:4Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,

n’abalunnyanja bo,

n’abagoba bo,

n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna

na buli muntu ali ku kyombo balibbira

wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.

2827:28 Ez 26:15Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,

kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.

29Abakubi b’enkasi bonna

balyabulira ebyombo byabwe;

n’abagoba n’abalunnyanja bonna

baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.

3027:30 a 2Sa 1:2 b Yer 6:26 c Kub 18:18-19Baliyimusa amaloboozi gaabwe

ne bakukaabira nnyo;

era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe

ne beevulunga mu vvu.

3127:31 a Is 16:9 b Is 22:12; Ez 7:18Balikumwera emitwe gyabwe,

era Balyambala ebibukutu.

Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde

nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.

3227:32 Ez 26:17Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe

nga boogera nti,

Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo

eyeetooloddwa ennyanja?

3327:33 nny 12; Ez 28:4-5Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,

amawanga mangi gamalibwanga;

era ne bakabaka b’ensi

baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.

3427:34 Zek 9:4Kaakano ennyanja ekumazeewo,

mu buziba bw’amazzi;

ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo

bonna babbidde naawe.

3527:35 Ez 26:15Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja

bafunye ensisi,

era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa

tebafaananika mu maaso olw’entiisa.

3627:36 a Yer 18:16; 19:8; 49:17; 50:13; Zef 2:15 b Zab 37:10, 36; Ez 26:21Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;

otuuse ku nkomerero embi,

so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Bibelen på hverdagsdansk

Ezekiels Bog 27:1-36

En klagesang over Tyrus

1Herren sagde til mig: 2„Du menneske, syng følgende klagesang over Tyrus, 3den store havneby, der driver handel med et utal af lande. Hør hvad Herren siger:

Tyrus, du praler af din skønhed,

du ser dig selv som et fornemt skib.27,3 Da Tyrus var bygget på en lille ø tæt ved fastlandet, er sammenligningen med et skib naturlig.

4Du hersker på de store have,

skibstømrerne frembragte et mesterværk.

5Dine planker var af fyrretræ fra Hermonbjerget,

din mast var et cedertræ fra Libanons skove.

6Dine årer blev udskåret af egetræ fra Bashan,

dækket var af buksbom fra Cypern med indlagt elfenben.27,6 Teksten er uklar, og ordet „elfenben” er sandsynligvis indført ved en kopieringsfejl.

7Sejlene var lavet af linned fra Egypten,

vævet i flotte farver og mønstre.

Soltaget var vævet i rødt med kostbart purpur,

hentet fra Elishas land.27,7 Enten Cypern eller det græske ørige, se 1.Mos. 10,4.

8Dine roere kom fra Sidon og Arvad,

men skibsofficererne var dine egne folk.

9Eksperter og bødkere fra Byblos

var parate til at udbedre revner og huller.

Handelsskibe fra hele verden

handlede med deres varer hos dig.

10Folk fra Persien, Lydien og Libyen

tjente i din hær som heltemodige krigere.

Deres hjelme og skjolde var et imponerende syn,

de gav dig berømmelse og ære.

11Folk fra Arvad stod vagt på din mur,

dine egne tapre krigere bemandede fæstningstårnene.

Skjoldene hang i rad og række på muren

og gjorde din skønhed fuldkommen.

12Helt fra Tarshish kom der handelsfolk for at købe dine varer og betale med sølv, jern, tin eller bly. 13Købmænd fra Grækenland, Tubal og Meshek bragte dig slaver og bronzekar. 14Fra Bet-Togarma27,14 Et område i det nuværende østlige Tyrkiet, se også 1.Mos. 10,3. kom arbejdsheste, krigsheste og muldyr.

15Folk fra Dedan transporterede varer fra de mange kystlande, som var dine handelspartnere. De betalte med ibenholt og elfenben. 16Aram sendte handelsfolk for at opkøbe dine varer. De bragte ædelsten, purpurfarver, broderier og fintvævet linned, koralsmykker og rubiner. 17Juda og de byer, som engang udgjorde kongeriget Israel, sendte købmænd med hvede fra Minnit, foruden kager, honning, olie og balsam. 18Folk fra Damaskus kom også og bragte vin fra Helbon samt hvid uld i bytte for mange slags varer. 19Grækere fra Uzal kom med smedejern, kassia og kalmus, 20og fra Dedan kom man med kostbare sadeltæpper.

21Arabere og Kedars stormænd kom med lam, væddere og geder. 22Opkøbere fra Saba og Oman gav krydderier, ædelsten og guld i bytte for dine varer. 23Der kom varer fra Karan, Kalne og Eden, og handelsfolk fra Saba bragte ting fra Ashur og Kilmad: 24smukke purpurfarvede og broderede klæder, kapper og stoffer, farvede tæpper med flettede snore af høj kvalitet. 25Det var de store Tarshish-skibe, der skabte din handel og rigdom.

Du var selv som et tungtlastet skib

midt ude på det store hav.

26Slaverne roede ud i rum sø,

hvor østenstormen knuste dig.

27Du led skibbrud og mistede alting:

dine kostbare varer, al din rigdom,

dine roere og søfolk,

skibstømrere og handelsmænd,

soldater og passagerer.

Alt sank i dybet på ulykkens dag.

28Ved dine sømænds dødsskrig

ryster fastlandet af skræk.

29Alle rorkarle går fra borde,

alle søfolk bliver på land.

30De græder og sørger over din skæbne,

fortvivlet kaster de jord på hovedet,

31i sorg rager de håret af

og klæder sig i sæk og aske.

De klager hjerteskærende,

tynget af sorg og gru.

32De synger en dødsklage over dig:

‚Var der nogensinde en by som Tyrus,

der nu ligger tavs i ruiner?’

33Dine varer blev værdsat af mange nationer,

jordens konger blev rige på grund af dig.

34Men du led skibbrud derude på havet,

både varer og mandskab sank ned i dybet.

35Kystlandene er chokerede over din skæbne,

kongerne græmmer sig og blegner af skræk.

36Alverdens handelsfolk fløjter i forundring

over din totale og endelige udslettelse.”