Ezeekyeri 23 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 23:1-49

Abooluganda Ababiri Abenzi

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 223:2 Yer 3:7; Ez 16:45“Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, 323:3 a Yos 24:14 b Lv 17:7abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. 4Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.

523:5 a 2Bk 16:7; Kos 5:13 b Kos 8:9“Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, 6abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. 723:7 Kos 5:3; 6:10Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. 823:8 a Kuv 32:4 b Ez 16:15Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.

923:9 a 2Bk 18:11 b Kos 11:5“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. 1023:10 a Kos 2:10 b Ez 16:41 c Ez 16:36Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo.

1123:11 Yer 3:8-11“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. 1223:12 2Bk 16:7-15Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. 13Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.

1423:14 a Ez 8:10 b Yer 22:14“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, 15nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. 16Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. 1823:18 a Zab 78:59; 106:40; Yer 6:8 b Yer 12:8; Am 5:21Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. 19Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 2123:21 Ez 16:26Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato.

2223:22 Ez 16:37“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: 2323:23 a 2Bk 20:14-18 b Yer 50:21 c 2Bk 24:2Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. 2423:24 a Yer 47:3; Ez 26:7, 10; Nak 2:4 b Yer 39:5-6Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. 2523:25 a nny 47 b Ez 20:47-48Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. 2623:26 a Yer 13:22 b Is 3:18-23; Ez 16:39Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. 2723:27 Ez 16:41Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.

2823:28 Yer 34:20“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. 2923:29 Ma 28:48Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo 3023:30 Ez 6:9bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. 3123:31 a Yer 25:15 b 2Bk 21:13Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo.

3223:32 Zab 60:3; Is 51:17; Yer 25:15“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Olinywa ekikompe kya muganda wo,

ekikompe ekigazi era ekinene;

kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa

kubanga kirimu ebintu bingi.

3323:33 Yer 25:15-16Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku,

ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala,

ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya.

3423:34 Zab 75:8; Is 51:17Olikinywa n’okikaliza;

olikyasaayasa,

ne weeyuzaayuza amabeere.

Nze Mukama Katonda, nkyogedde.

3523:35 a Is 17:10; Yer 3:21 b 1Bk 14:9Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” 3623:36 a Ez 16:2 b Is 58:1; Ez 22:2; Mi 3:8Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, 3723:37 Ez 16:36kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. 38Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. 3923:39 a 2Bk 21:4 b Yer 7:10Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.

4023:40 a Is 57:9 b 2Bk 9:30 c Yer 4:30; Ez 16:13-19“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. 4123:41 a Es 1:6; Nge 7:17; Am 6:4 b Is 65:11; Ez 44:16Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange.

4223:42 a Lub 24:30 b Ez 16:11-12“Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. 4323:43 nny 3Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ 44Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. 4523:45 Lv 20:10; Ez 16:38; Kos 6:5Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

4623:46 Ez 16:40“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. 4723:47 a 2By 36:19 b 2By 36:17; Ez 16:40-41Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’ 

4823:48 2Pe 2:6“Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. 4923:49 Ez 7:4; 9:10; 20:38Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 23:1-49

兩個淫婦的比喻

1耶和華對我說: 2「人子啊,有一對同胞姊妹, 3她們在埃及做娼妓,年輕時就淫亂,任人撫摸她們的胸,玩弄她們的乳。 4姐姐名叫阿荷拉,妹妹名叫阿荷利巴。後來她們都歸屬了我,並且生兒育女。阿荷拉撒瑪利亞阿荷利巴耶路撒冷

5阿荷拉歸屬我後仍然淫亂,貪戀她的情人——亞述人。 6他們都是身穿紫衣的省長和總督,都是英俊的年輕騎士。 7她便與這些亞述的精英放縱情慾,拜他們的偶像,玷污自己。 8她沒有放棄在埃及的淫蕩行為,她年輕的時候就任人玩弄、發洩情慾。 9因此,我把她交在她所戀慕的亞述人手裡。 10他們扒光她的衣服,奪去她的兒女,用刀殺了她。她受了報應,成了婦女口中的笑柄。

11「她妹妹阿荷利巴看見這一切,不但沒有引以為戒,反而更加放蕩淫亂。 12她貪戀亞述的省長和總督,那些衣著華麗、英俊的年輕騎士。 13我看見她玷污了自己,與姐姐的行徑如出一轍。 14她還變本加厲地放蕩淫亂,看見牆上用朱砂畫著迦勒底人的像, 15腰間束帶,頭巾飄揚,都像是來自迦勒底巴比倫人的將領, 16便戀上了他們,差遣使者到他們那裡。 17巴比倫人便來上她的床,放縱情慾玷污了她。之後,她便厭棄他們。 18她繼續公開地淫亂,在眾人面前赤身露體,我厭棄她,像厭棄她姐姐一樣。 19她卻更加淫亂,懷念自己年輕時在埃及為娼的日子, 20怎樣與那些體壯精足、如驢似馬的情人縱淫, 21渴望重溫早年的淫行,任埃及人摸胸弄乳。

22「因此,主耶和華對阿荷利巴這樣說,『我要使那些被你離棄的情人從四面八方來攻擊你。 23他們是巴比倫人,還有從比割書亞哥亞來的迦勒底人以及亞述人,都是騎馬的省長和總督及年輕英俊的有名將領。 24他們率領大隊人馬,帶著兵器、戰車和軍需車來攻擊你。他們頂盔貫甲,手拿盾牌從四面八方進攻你。我要讓他們懲罰你,他們會按自己的律例來審判你。 25我要藉著他們向你傾倒我的義憤,他們要在憤怒中對付你,割去你的鼻子和耳朵,擄去你的兒女,城中剩下的人都要死於刀下,被火吞噬。 26他們要剝下你的衣服,奪去你的珠寶。 27我要藉此制止你從埃及染上的淫亂和放蕩,使你不再嚮往埃及28我要把你交在你所厭惡的人手中, 29他們必滿懷仇恨地對付你,奪去你努力得來的一切,留下你赤身露體,使你淫蕩的醜惡公佈於眾。 30因為你與各國苟合,被他們的偶像玷污,這些事必臨到你身上。 31你既然步你姐姐的後塵,我要讓你喝她喝的那杯。』

32「主耶和華說,

『你必喝你姐姐那又大又深的杯,

成為人們恥笑和辱罵的對象。

33你姐姐撒瑪利亞的杯盛滿了恐懼和淒涼。

你喝了後必酩酊大醉,

滿心憂愁。

34你必一滴不剩把它喝光,

然後把杯摔成碎片,

抓破自己的胸脯。

這是主耶和華說的。』

35「主耶和華說,『你既忘記我,把我拋在腦後,就要受自己放蕩淫亂的報應。』」

36耶和華又對我說:「人子啊,你要審判阿荷拉阿荷利巴,指出她們的醜行。 37她們淫蕩,手上沾滿血腥,與偶像淫亂,把為我所生的兒女燒死獻給偶像。 38同時,她們還在同一天玷污我的聖所,褻瀆我的安息日, 39她們焚燒自己的兒女獻祭給偶像,並在當天進入我的聖所,褻瀆聖所。這就是她們在我聖所裡的惡行。

40「她們甚至派使者請來遠方的人,並且沐浴洗身,描眉畫眼,佩戴首飾, 41坐在華麗的床上,面前的桌子上擺設著我的香料和膏油。 42她們屋裡傳出眾人的安樂聲,從曠野來的酒徒和粗漢把鐲子戴在這對姊妹的手腕上,把華冠戴在她們的頭上。 43我說,『她們縱慾無度、年老色衰,這些人還與她們淫亂。 44他們與這對淫婦阿荷拉阿荷利巴淫亂,好像與娼妓淫亂一樣。 45她們是雙手沾滿血腥的淫婦,必有義人按她們應得的報應審判她們。』

46「主耶和華說,『我要使許多人起來攻擊、搶掠她們,叫她們膽戰心驚。 47這些人要用石頭打死她們,用刀殺戮她們和她們的兒女,用火燒毀她們的房屋。 48這樣,我便制止了這地方的淫亂,所有的婦女都引以為戒,不敢效法她們。 49她們淫亂,必得報應;她們拜偶像,必受懲罰。這樣,你們就知道我是主耶和華。』」