Ezeekyeri 22 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 22:1-31

Ebibi bya Yerusaalemi

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 222:2 a Ez 24:6, 9; Nak 3:1 b Ez 16:2“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve; 322:3 nny 6, 13, 27; Ez 23:37, 45mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume, 422:4 a 2Bk 21:16 b Ez 21:25 c Ez 5:14era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna. 5Abali okumpi n’abali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo.

622:6 Is 1:23“ ‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bw’akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. 722:7 a Ma 5:16; 27:16 b Kuv 22:21-22Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. 822:8 Ez 23:38-39Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange. 922:9 a Lv 19:16 b Ez 18:11 c Kos 4:10, 14Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa. 1022:10 Lv 18:8, 19Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu n’abo abeebaka n’abakazi abali mu nsonga zaabwe ez’abakazi nga si balongoofu. 1122:11 a Lv 18:15 b Lv 18:9; 2Sa 13:14Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe. 1222:12 a Ma 27:25; Mi 7:3 b Lv 19:13Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.

1322:13 a Ez 21:17 b Is 33:15 c nny 3“ ‘Kale nno ndikuba mu ngalo olw’amagoba agatasaanidde ge mukoze n’omusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe. 1422:14 a Ez 24:14 b Ez 17:24; 21:7Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola. 1522:15 a Ma 4:27; Zek 7:14 b Ez 23:27Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo. 16Bw’oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g’amawanga, olimanya nga Nze Mukama.’ ”

17Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1822:18 a Zab 119:119; Is 1:22 b Yer 6:28-30“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza. 19Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi. 2022:20 Mal 3:2Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. 21Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo. 2222:22 a Is 1:25 b Ez 20:8, 33Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”

23Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 2422:24 Ez 24:13“Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’ 2522:25 a Yer 11:9 b Kos 6:9 c Yer 15:8Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. 2622:26 a Mal 2:7-8 b Ez 44:23 c Lv 10:10 d 1Sa 2:12-17; Yer 2:8, 26; Kag 2:11-14Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo. 2722:27 Is 1:23Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya. 2822:28 a Ez 13:10 b Ez 13:2, 6-7Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde. 2922:29 a Kuv 22:21; 23:9 b Is 5:7Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.

3022:30 a Ez 13:5 b Zab 106:23; Yer 5:1“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu. 3122:31 a Ez 16:43 b Ez 7:8-9; 9:10Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo n’omuliro ogw’obusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bw’ayogera Mukama Katonda.