Ezeekyeri 21 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 21:1-32

Katonda Akozesa Babulooni ng’Ekitala kye

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 221:2 Ez 20:46“Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri, 321:3 a Yer 21:13 b nny 9-11; Yob 9:22oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe. 421:4 Ez 20:47Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono. 521:5 a nny 30 b Nak 1:9Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’ 

621:6 Is 22:4“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike. 721:7 Ez 22:14; 7:17Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”

8Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 9“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa

era kiziguddwa,

1021:10 Zab 110:5-6; Is 34:5-6kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu!

Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda?

“ ‘Ekitala kinyooma buli muggo.

1121:11 Yer 46:4“ ‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa

kiryoke kinywezebwe mu mukono;

kiwagaddwa era kiziguddwa,

kiryoke kiweebwe omussi.

1221:12 Yer 31:19Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu,

kubanga ekyo nkikola bantu bange,

era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri.

Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange,

noolwekyo weekube mu kifuba.

13“ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera Mukama Katonda.’

1421:14 a Kbl 24:10 b Ez 6:11; 30:24“Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu,

n’okuba ne mu ngalo.

Leka ekitala kisale emirundi ebiri

oba emirundi esatu.

Kitala kya kutta,

okutta okunene,

nga kibataayiza enjuuyi zonna,

1521:15 a 2Sa 17:10 b Zab 22:14era n’emitima gyabwe girisaanuuka,

n’abattiddwa baliba bangi.

Ntadde ekitala ekitta

ku miryango gyabwe gyonna.

Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu

era kinywezebbwa olw’okutta.

16Ggwe ekitala genda osale

ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono,

ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.

1721:17 a nny 14; Ez 22:13 b Ez 5:13Nange ndikuba mu ngalo,

n’ekiruyi kyange kirikkakkana.

Nze Mukama njogedde.”

18Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 19“Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga. 2021:20 Ma 3:11; Yer 49:2; Am 1:14Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera. 2121:21 a Nge 16:33 b Kbl 22:7; 23:23Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba. 2221:22 Ez 4:2; 26:9Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza. 2321:23 Kbl 5:15Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.

24Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.

2521:25 Ez 35:5“ ‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala, 2621:26 a Yer 13:18 b Zab 75:7; Ez 17:24bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa. 2721:27 Zab 2:6; Yer 23:5-6; Ez 37:24; Kag 2:21-22Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’

2821:28 a Zef 2:8 b Yer 12:12“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:

“ ‘Ekitala, ekitala,

kisowoddwa okutta,

Kiziguddwa okusaanyaawo

era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.

2921:29 nny 25; Ez 22:28; 35:5Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,

ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,

ekitala kiriteekebwa ku bulago

bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,

olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe

be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.

3021:30 a Yer 47:6 b Ez 16:3“ ‘Ekitala kizze

mu kiraato kyakyo.

Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,

eyo gye ndikusalirira omusango.

3121:31 a Ez 22:20-21 b Yer 51:20-23Ndikufukako ekiruyi kyange,

ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,

ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,

abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.

3221:32 a Mal 4:1 b Ez 25:10Oliba nku za muliro,

n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,

era tolijjukirwa nate,

kubanga nze Mukama njogedde.’ ”