Ezeekyeri 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 19:1-14

Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri

119:1 a Ez 26:17; 27:2, 32 b 2Bk 24:6Kungubagira abalangira ba Isirayiri, 2oyogere nti,

“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,

mu mpologoma!

Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,

n’erabirira abaana baayo.

3N’ekuza emu ku baana baayo

n’efuuka empologoma ey’amaanyi,

n’eyiga okuyigga ebisolo,

n’okulya abantu.

419:4 2Bk 23:33-34; 2By 36:4Amawanga gaawulira ebimufaako,

n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,

ne bamusibamu amalobo

ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.

519:5 2Bk 23:34“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,

ne bye yali alindirira nga biyise,

n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,

n’egifuula empologoma ey’amaanyi.

619:6 2Bk 24:9; 2By 36:9N’etambulatambula mu mpologoma,

kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,

era n’eyiga okuyigga ensolo,

n’okulya abantu.

719:7 Ez 30:12N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,

n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;

ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,

ne batya olw’okuwuluguma kwayo.

819:8 a 2Bk 24:2 b 2Bk 24:11Awo amawanga gonna ne gagirumba,

okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,

ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,

ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.

919:9 a 2By 36:6 b 2Bk 24:15Ne bakozesa amalobo okugisikayo,

ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,

ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;

n’eteekebwa mu kkomera,

n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.

1019:10 Zab 80:8-11“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro

ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;

ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,

kubanga waaliwo amazzi mangi.

1119:11 Ez 31:3; Dan 4:11Amatabi gaagwo gaali magumu,

era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.

Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu

okusinga emiti emirala,

ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,

n’olw’amatabi gaagwo amangi.

1219:12 a Ez 17:10 b Is 27:11; Ez 28:17; Kos 13:15Naye gwasigulibwa n’ekiruyi

ne gusuulibwa wansi;

embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,

ebibala byagwo ne biggwaako,

n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,

era ne gwokebwa omuliro.

1319:13 a Ez 20:35 b Kos 2:3Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,

awakalu awatali mazzi.

1419:14 a Ez 20:47 b Ez 15:4Omuliro gwava ku limu ku matabi,

ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.

Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo

eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’

Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”