Ezeekyeri 18 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 18:1-32

Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 218:2 Is 3:15; Yer 31:29; Kgb 5:7“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,

n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?

3“Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. 418:4 nny 20; Is 42:5; Bar 6:23Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.

5“Emmeeme eyonoona ye erifa,

omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;

618:6 a Ez 22:9 b Ma 4:19; Ez 6:13; 20:24nga talya mu masabo agali ku nsozi

newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;

n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,

newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;

718:7 a Kuv 22:21 b Kuv 22:26; Ma 24:12 c Ma 15:11; Mat 25:36omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,

naye asasula ebbanja lye lyonna,

atanyaga muntu yenna,

naye emmere ye agigabira abayala,

n’ayambaza n’abali obwereere;

818:8 a Kuv 22:25; Lv 25:35-37; Ma 23:19-20 b Zek 8:16atawola lwa magoba

newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.

Yeewala okukola ekibi,

era asala emisango egy’ensonga.

918:9 a Kbk 2:4 b Lv 18:5; Ez 20:11; Am 5:4Agoberera ebiragiro byange,

n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,

oyo ye muntu omutuukirivu

era aliba mulamu,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

1018:10 Kuv 21:12“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:

“N’alya mu masabo agali ku nsozi,

n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,

1218:12 a Am 4:1 b 2Bk 21:11; Is 59:6-7; Yer 22:17; Ez 8:6, 17n’anyigiriza omwavu n’omunaku,

n’okubba n’abba,

n’atasasula kye yeeyama,

n’asinza bakatonda abalala,

n’akola eby’ekivve,

1318:13 a Kuv 22:25 b Ez 33:4-5n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;

omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.

1418:14 2By 34:21; Nge 23:24“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;

15“N’atalya mu masabo agali ku nsozi

newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,

n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,

1618:16 Zab 41:1; Is 58:10atanyigiriza muntu yenna

newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,

atabba, naye agabira emmere abayala

n’abali obwereere

n’abambaza.

17Yeekuuma obutakola kibi,

n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,

era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.

Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.

1918:19 Kuv 20:5; Ma 5:9; Yer 15:4; Zek 1:3-6“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 2018:20 Ma 24:16; 1Bk 8:32; 2Bk 14:6; Is 3:11; Mat 16:27; Bar 2:9Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.

2118:21 Ez 33:12, 19“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 2218:22 Zab 18:20-24; Is 43:25; Mi 7:19Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 2318:23 a Zab 147:11 b Ez 33:11; 1Ti 2:4Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?

2418:24 1Sa 15:11; 2By 24:17-20; Ez 3:20; 20:27; 2Pe 2:20-22“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.

2518:25 Lub 18:25; Yer 12:1; Ez 33:17; Zef 3:5; Mal 2:17; 3:13-15“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 2718:27 Is 1:18Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?

3018:30 a Mat 3:2 b Ez 7:3; 33:20; Kos 12:6“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 3118:31 a Zab 51:10 b Is 1:16-17; Ez 11:19; 36:26Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 3218:32 Ez 33:11Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”