Ezeekyeri 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 15:1-8

Yerusaalemi Omuzabbibu Ogutaliimu Nsa

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 215:2 Is 5:1-7; Yer 2:21; Kos 10:1“Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu gusinga gutya ettabi ery’omuti ku miti egy’omu kibira? 3Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna? 415:4 Ez 19:14; Yk 15:6Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa? 5Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?”

6Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi. 715:7 a Zab 34:16; Ez 14:8 b Is 24:18; Am 9:1-4Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze Mukama Katonda. 815:8 a Ez 14:13 b Ez 17:20Ndizisa ensi, kubanga tebabadde beesigwa, bw’ayogera Mukama Katonda.”