Ezeekyeri 14 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 14:1-23

114:1 Ez 8:1; 20:1Abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja gye ndi, ne batuula mu maaso gange. 2Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 314:3 a nny 7; Ez 7:19 b Is 1:15; Ez 20:31“Omwana w’omuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka n’ebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko? 4Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bw’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, n’agenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu. 514:5 a Zek 11:8 b Yer 2:11Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gy’ennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’

614:6 Is 2:20; 30:22“ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe eby’ekivve.

714:7 Kuv 12:48; 20:10“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga. 814:8 a Ez 15:7 b Ez 5:15Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

914:9 a Yer 14:15 b Yer 4:10 c 1Bk 22:23“ ‘Nnabbi bw’anaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ng’ategeeza nti nze Mukama Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri. 10Baliba bansingiddwa omusango, era nnabbi aliba asingiddwa omusango gwe gumu n’oyo azze okumwebuuzaako. 1114:11 a Ez 48:11 b Ez 11:19-20; 37:23Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

12Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 1314:13 a Lv 26:26 b Ez 5:16; 6:14; 15:8“Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 1414:14 a Lub 6:8 b nny 20; Ez 28:3; Dan 1:6; 6:13 c Yob 1:1 d Yob 42:9; Yer 15:1; Ez 18:20newaakubadde ng’abasajja bano abasatu Nuuwa, ne Danyeri, ne Yobu bandibadde bagirimu, bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

1514:15 a Ez 5:17 b Lv 26:22“Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo, 1614:16 Ez 18:20ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.

1714:17 a Lv 26:25; Ez 5:12; 21:3-4 b Ez 25:13; Zef 1:3“Oba singa ndeeta ekitala ku nsi eyo ne njogera nti, ‘Leka ekitala kiyite mu nsi yonna,’ ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 18nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ng’abasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

1914:19 a Ez 7:8 b Ez 38:22“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 2014:20 nny 14nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

2114:21 Yer 15:3; Ez 5:17; 33:27; Am 4:6-10; Kub 6:8“Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala n’ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu n’ensolo zaabwe! 2214:22 a Ez 12:16 b Ez 20:43Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko. 2314:23 Yer 22:8-9Bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Korean Living Bible

에스겔 14:1-23

우상 숭배를 용납하지 않으시는 하나님

1이스라엘의 장로 몇 사람이 나를 찾아와서 내 앞에 앉았다.

2그때 여호와께서 나에게 말씀하셨다.

3“사람의 아들아, 이들이 그 마음에 우상을 섬기고 죄악의 장애물을 그 앞에 두었는데 이들이 묻는 것을 내가 용납해야 되겠느냐?

4그러므로 너는 이들에게 나 주 여호와가 이렇게 말한다고 일러 주어라. ‘이스라엘 백성 가운데 누구든지 그 마음에 우상을 섬기며 죄악의 장애물을 자기 앞에 두고 예언자에게 찾아가는 자에게는 14:4 또는 ‘그 우상의 많은 대로’그 우상을 섬긴 정도에 따라 내가 응답하겠다.

5내가 이렇게 하는 것은 우상 때문에 나를 배반한 이스라엘 백성의 마음을 되돌려 놓기 위해서이다.’

6“그러므로 너는 이스라엘 백성에게 나 주 여호와가 이렇게 말한다고 일러 주어라. ‘너희는 뉘우치고 우상을 떠나며 너희 모든 더러운 행실을 버려라.

7이스라엘 백성과 이스라엘에 살고 있는 외국 사람 가운데 누구든지 나를 떠나 그 마음 가운데 우상을 섬기고 죄악의 장애물을 자기 앞에 그대로 둔 채 나에게 묻고자 예언자에게 찾아가는 자에게는 나 여호와가 직접 대답해 주겠다.

8그러나 내가 그 사람을 대적하여 그를 본보기로 처벌하고 웃음거리가 되게 하여 그를 내 백성 가운데서 제거해 버리겠다. 그러면 너희가 나를 여호와인 줄 알 것이다.

9만일 예언자가 설득에 못 이겨 예언을 해 준다고 해도 예언자가 설득당하도록 한 것은 나 여호와이다. 내가 손을 들어 그를 쳐서 내 백성 이스라엘 가운데서 그를 제거하겠다.

10그 예언자와 그에게 묻는 자가 다 같이 자기들의 죄에 대하여 형벌을 받을 것이다.

11내가 이렇게 하는 것은 이스라엘 백성이 다시는 나를 떠나지 않게 하며 그들의 죄로 자신을 더럽히지 않게 하여 그들은 내 백성이 되고 나는 그들의 하나님이 되기 위해서이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.’ ”

피할 수 없는 심판

12여호와께서는 다시 나에게 말씀하셨다.

13“사람의 아들아, 만일 어떤 나라가 나에게 범죄하여 신실치 못하면 내가 손을 들어 식량 공급을 끊어 버리고 기근을 보내 사람과 짐승을 다 같이 죽여 버리겠다.

14비록 노아, 다니엘, 욥과 같은 사람이 거기 있을지라도 그들은 자기들의 의로 자기들의 생명만 건지게 될 것이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.

15“만일 내가 사나운 짐승을 보내 그 땅에 쏘다니게 하여 짐승 때문에 사람이 통행하지 못하게 되었을 때

16비록 이 세 사람이 거기에 있을지라도 내가 분명히 말하지만 그들은 자기들의 자녀들도 구출하지 못할 것이며 그들은 자신들만 구원을 받고 그 땅은 황폐해질 것이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.

17“또 내가 그 땅에 전쟁을 일으켜 칼로 사람과 짐승을 죽일 때

18비록 이 세 사람이 거기 있을지라도 내가 분명히 말하지만 그들은 자기들의 자녀들도 구출하지 못하고 자기들만 구원을 받을 것이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.

19“내가 그 땅에 무서운 질병을 보내고 내 분노를 그 위에 쏟아 사람과 짐승을 죽일 때

20비록 노아와 다니엘과 욥이 거기 있을지라도 내가 분명히 말하지만 그들은 자기 자녀들도 구출하지 못하고 자기들의 의로 자기들만 구원을 받을 것이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.”

21주 여호와께서 다시 말씀하셨다. “내가 나의 네 가지 무서운 심판, 곧 전쟁과 기근과 사나운 짐승과 질병을 예루살렘에 보내 사람과 짐승을 다 죽일 때 그 피해가 대단할 것이다.

22그러나 그 가운데 일부 살아 남은 자들이 거기서 끌려나올 것이다. 그들이 너희에게 오는 것을 보면 내가 예루살렘에 내린 그 모든 재앙에 대하여 너희가 위로를 받을 것이다.

23너희가 그들의 행동을 보고 위로를 받게 될 것은 내가 이유 없이 이 모든 일을 행하지 않았다는 사실을 너희가 알게 될 것이기 때문이다. 이것은 나 주 여호와의 말이다.”