Ezeekyeri 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 12:1-28

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 212:2 Is 6:10; Ez 2:6-8; Mat 13:15“Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.

312:3 a Yer 36:3 b Yer 26:3 c 2Ti 2:25-26“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 412:4 nny 12; Yer 39:4Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. 5Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. 612:6 nny 12; Is 8:18; 20:3; Ez 4:3; 24:24Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”

712:7 Ez 24:18; 37:10Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.

8Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 912:9 Ez 17:12; 20:49; 24:19“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’

10“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 1112:11 2Bk 25:7; Yer 15:2; 52:15Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’

“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.

1212:12 a Yer 39:4 b Yer 52:7“Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 1312:13 a Ez 17:20; 19:8; Kos 7:12 b Is 24:17-18 c Yer 39:7 d Yer 52:11; Ez 17:16Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 1412:14 2Bk 25:5; Ez 5:10, 12Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.

15“Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 1612:16 Yer 22:8-9; Ez 6:8-10; 14:22Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”

17Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 1812:18 Kgb 5:9; Ez 4:16“Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 1912:19 a Ez 6:6-14; Mi 7:13; Zek 7:14 b Ez 4:16; 23:33Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 2012:20 Is 7:23-24; Yer 4:7Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”

21Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 2212:22 Ez 11:3; Am 6:3; 2Pe 3:4“Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 2312:23 Zab 37:13; Yo 2:1; Zef 1:14Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 2412:24 Yer 14:14; Ez 13:23; Zek 13:2-4Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 2512:25 Is 14:24; Kbk 1:5Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

26Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 2712:27 Dan 10:14“Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’

28“Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”