Ezeekyeri 11 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 11:1-25

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

111:1 Ez 8:16; 10:19; 43:4-5Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. 2Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. 311:3 a Yer 1:13; Ez 24:3 b nny 7, 11Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ 411:4 Ez 3:4, 17Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”

511:5 Yer 17:10Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. 611:6 Ez 7:23; 22:6Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.

711:7 Ez 24:3-13; Mi 3:2-3Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. 811:8 Nge 10:24Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda. 911:9 a Zab 106:41 b Ma 28:36; Ez 5:8Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 1011:10 2Bk 14:25Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama. 1111:11 nny 3Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 1211:12 a Lv 18:4; Ez 18:9 b Ez 8:10Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”

1311:13 a nny 1 b Ez 9:8Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”

14Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1511:15 Ez 33:24“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”

Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo

1611:16 Zab 90:1; 91:9; Is 8:14“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 1711:17 Yer 3:18; 24:5-6; Ez 28:25; 34:13Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’

1811:18 a Ez 5:11 b Ez 37:23“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 1911:19 a Yer 32:39 b Zek 7:12 c Ez 18:31; 36:26; 2Ko 3:3Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 2011:20 a Zab 105:45 b Ez 14:11; 36:26-28Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 2111:21 Ez 9:10; 16:43Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”

2211:22 Ez 10:19Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 2311:23 a Ez 8:4; 10:4 b Zek 14:4Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 2411:24 a Ez 8:3 b 2Ko 12:2-4Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 2511:25 Ez 3:4, 11Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 11:1-25

審判以色列的首領

1那時,靈將我舉起,帶我到耶和華殿的東門,我見那裡有二十五個人,當中有百姓的首領押朔的兒子雅撒尼亞比拿雅的兒子毗拉提2耶和華對我說:「人子啊,這些人在這城裡專給人出毒計,設惡謀。 3他們說,『建造房屋的時候不是到了嗎?我們的城像鐵鍋一樣堅固,我們像在鍋裡的肉一樣得到保護。』 4人子啊,你要說預言,說預言斥責他們。」

5耶和華的靈降在我身上,並吩咐我說:「耶和華這樣說,『以色列人啊,我知道你們口中在說什麼,心裡在想什麼。 6你們在城中殺人無數,大街小巷遍地屍體。 7所以,主耶和華說,你們在城中殺死的人就是肉,這城就是鍋,但我必把你們從鍋中拉出來。 8你們懼怕刀劍,我必使刀劍臨到你們。這是主耶和華說的。 9我必把你們從城中趕出去,交給外族人。我必懲罰你們, 10使你們死於刀下。我要審判整個以色列,這樣你們就知道我是耶和華。 11這城必不是你們的鍋,你們也必不是其中的肉,我必在全以色列施行審判。 12這樣你們就知道我是耶和華。因為你們沒有遵行我的律例,沒有順從我的典章,卻效法你們四鄰外族的規矩。』」

13我正在說預言的時候,比拿雅的兒子毗拉提就死了。我便俯伏在地大喊:「唉,主耶和華啊,你要滅絕以色列的餘民嗎?」

14耶和華對我說: 15「人子啊,留在耶路撒冷的居民會這樣談論你、你的親人和一切被擄的以色列人,說,『他們遠離了耶和華,這地方已經給了我們。』 16因此,你要說,『主耶和華這樣說,我雖然把以色列人趕到遠方各國,分散在列邦,卻要在他們所去的國家暫作他們的聖所。』

17「你要說,『主耶和華這樣說,我必從各國召集你們,從你們被驅散到的列邦中聚集你們,將以色列再賜給你們。』 18他們回來後,必除掉一切醜惡可憎的事。 19我必賜給他們一顆專一的心,將新靈放在他們裡面,除去他們的石心,賜給他們肉心, 20使他們恪守我的律例,謹遵我的典章。他們將做我的子民,我將做他們的上帝。 21至於那些心裡戀慕醜惡可憎之物的人,我必按他們所行的報應他們。這是主耶和華說的。」

22於是,基路伯天使展開翅膀,輪子跟在他們旁邊,在他們上面有以色列上帝的榮耀。 23耶和華的榮耀從城中升起,停在城東的山上。 24靈將我舉起,在異象中把我帶到迦勒底被擄的人那裡,我所見的異象從我面前上升消失了。 25我把耶和華讓我看到的一切都告訴了那些被擄的人。