Ezeekyeri 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 10:1-22

Ekitiibwa kya Mukama Kiva mu Yeekaalu

110:1 a Kub 4:2 b Kuv 24:10 c Ez 1:22Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. 210:2 a Ez 9:2 b Ez 1:15 c Kub 8:5Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.

3Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. 410:4 Ez 1:28; 9:3Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama. 510:5 Yob 40:9; Ez 1:24N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.

6Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. 7Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. 810:8 Ez 1:8Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu.

910:9 Ez 1:15-16; Kub 21:20Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. 10Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. 11Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. 1210:12 a Kub 4:6-8 b Ez 1:15-21Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. 13Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” 1410:14 a 1Bk 7:36 b Ez 1:6 c Ez 1:10; Kub 4:7Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

1510:15 Ez 1:3, 5Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. 16Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. 1710:17 Ez 1:20-21Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.

1810:18 Zab 18:10Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 1910:19 Ez 11:1, 22Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

2010:20 Ez 1:1Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. 2110:21 a Ez 41:18 b Ez 1:6Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. 22Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.