Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ezeekyeri 1

Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama

1Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.

Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.

10 Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.

15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,[a] zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.

19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.

22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. 24 Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.

25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.

Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

Notas al pie

  1. 1:16 Berulo ejjinja ery’omuwendo

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 1

以西結的異象

1第三十年四月五日,我正在迦巴魯河畔被擄的人當中,忽然天開了,我看見了上帝的異象。 那是約雅斤王被擄第五年的四月五日, 就在迦勒底人境內的迦巴魯河畔,耶和華的話特別傳給了布西的兒子以西結祭司,耶和華的能力[a]降在他身上。

在異象中,我看見一陣狂風從北方颳來,隨後有一大朵雲閃耀著火光,四周環繞著燦爛的光芒,火的中心像發光的金屬。 火中有四個像人形的活物, 每個活物有四張不同的面孔和四個翅膀。 他們的腿是直的,腳如同牛犢的蹄,都亮如磨光的銅。 四面的翅膀下都有人的手,四個活物都有臉和翅膀, 翅膀彼此相連。他們移動時不必轉身,各朝前面移動。 10 四個活物的面孔是這樣的:正面是人的臉,右面是獅子的臉,左面是牛的臉,後面是鷹的臉。 11 他們的翅膀向上展開,每個活物的一對翅膀與其他活物的翅膀相連,另外一對翅膀遮蔽身體。 12 耶和華的靈往哪裡去,他們也往哪裡去,移動時不用轉身。 13 四個活物的形像如燃燒的火炭,又像火把。活物之間有火上下移動,發出耀眼的閃電。 14 這些活物像閃電一樣往來飛馳。

15 當我觀看這些活物的時候,發現每個活物旁邊的地上都有一個輪子。 16 四個輪子的形狀和結構都一樣,好像輪套輪,如同閃耀的綠寶石。 17 他們可以向四面移動,移動時輪子不必轉向。 18 輪圈高而可畏,周圍佈滿了眼睛。 19 活物行走,輪子也在旁邊行走;活物上升,輪子也上升。 20 靈往哪裡去,活物也往哪裡去,輪子也跟著往哪裡去,因為活物的靈在輪子裡。 21 活物行走,輪子也行走;活物站立不動,輪子也站立不動;活物上升,輪子也跟著上升,因為活物的靈在輪子裡。

22 活物的頭上好像鋪展著茫茫的穹蒼,如同頂著耀眼的水晶。 23 穹蒼下四個活物伸展翅膀,彼此相對,各用兩個翅膀遮蔽身體。 24 他們移動時,翅膀發出的響聲如洪濤之聲,既像全能者的聲音,又像軍隊的呐喊。活物站住的時候,便將翅膀垂下。 25 他們站立垂下翅膀時,有聲音從他們頭頂的穹蒼之上傳來。

26 在他們頭頂的穹蒼之上彷彿有藍寶石的寶座,有一位形狀像人的高高坐在寶座上。 27 我看到祂的腰部以上好像燒紅發亮的金屬,好像有火四面環繞。腰部以下如同火焰。祂周圍有耀眼的光輝, 28 彷彿雨天雲中的彩虹。

這是耶和華榮耀的形像。我一看見,便俯伏在地,隨後聽見有說話的聲音。

Notas al pie

  1. 1·3 能力」希伯來文是「手」。