Eseza 4 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Eseza 4:1-17

Moluddekaayi Akkirizisa Eseza Okuyamba Abayudaaya

14:1 a Kbl 14:6 b 2Sa 13:19; Ez 27:30-31; Yon 3:5-6 c Kuv 11:6; Zab 30:11Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeesiiga evvu, n’afuluma n’agenda mu kibuga wakati, n’akaaba n’eddoboozi ddene olw’ennaku ennyingi: 24:2 Es 2:19naye n’akoma ku wankaaki wa kabaka, kubanga tewali eyakirizibwanga okuyingira mu mulyango gwa Kabaka ng’ayambadde ebibukutu. 3Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi n’okusiiba n’okukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.4:3 Ebibukutu oba ebikutiya

4Awo abaweereza ba Eseza abakazi n’abalaawe be ne bajja gyali okumutegeeza ku bibadde wo, era Nnabagereka n’anakuwala nnyo: n’aweereza Moluddekaayi ebyambalo yeyambulemu ebibukutu bye yali ayambadde naye Moluddekaayi n’atabikkiriza. 5Eseza n’atumya Kasaki omu ku balaawe ba Kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza n’amukuutira okugenda okumanya ekizibu ekyali kituuse ku Moluddekaayi era n’ensonga.

6Awo Kasaki n’afuluma n’agenda ebweru mu kifo ekigazi eky’ekibuga ekyayolekera omulyango gwa Kabaka, Moluddekaayi gye yali. 74:7 Es 3:9; 7:4Moluddekaayi n’amutegeeza byonna ebyamutuukako, n’omuwendo gw’ensimbi Kamani gwe yali asuubizza okuteeka mu ggwanika lya Kabaka olw’okuzikiriza Abayudaaya. 8Era n’amuwa n’ebyaggyibwa mu kiwandiiko eky’etteeka eryalaalikibwa mu Susani, okuliraga Eseza n’okulimunnyonnyola ate era n’okukuutira Eseza okugenda amwegayiririre ye n’abantu be eri Kabaka. 9Amangwago Kasaki n’agenda n’abuulira Eseza ebigambo Moluddekaayi bye yali amutegeezezza. 10Awo Eseza n’alagira Kasaki okuzzaayo obubaka ewa Moluddekaayi nti, 114:11 a Es 2:14 b Dan 2:9 c Es 5:1, 2; 8:4“Abakungu ba kabaka bonna n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna eby’obwakabaka bakimanyi nti tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olw’omunda ng’atayitiddwa kabaka. Era waliwo n’etteeka nti akolanga bw’atyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, n’aba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”

12Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku Moluddekaayi, 13Moluddekaayi n’amuddamu nti, “Tolowooza nti olw’okuba oli mu lubiri lwa Kabaka, gwe onowonawo wekka mu Bayudaaya bonna. 144:14 a Mub 3:7; Is 62:1; Am 5:13 b Es 9:16, 22 c Lub 45:7; Ma 28:29 d Lub 50:20Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”

15Awo Eseza n’aweereza obubaka eri Moluddekaayi nti, 164:16 a 2By 20:3; Es 9:31 b Lub 43:14“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana n’ekiro okumala ennaku ssatu. Nze n’abaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba ow’okuzikirira, nzikirira.”

17Amangwago Moluddekaayi n’agenda, era n’akola byonna Eseza bye yamulagira.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯帖记 4:1-17

末底改求以斯帖帮忙

1末底改得知这事,就撕裂衣服,披上麻衣,头蒙灰尘,在城中行走,放声痛哭, 2一直走到宫门前才停住,因为穿麻衣的不可进宫门。 3王的命令和谕旨传到各省,各地的犹太人极其悲伤,他们禁食、哭泣、哀号,许多人身披麻衣躺在灰中。

4以斯帖王后的宫女和太监把这事禀告她,她非常难过,便为末底改送去衣服,让他换下麻衣,他却不肯接受。 5于是,以斯帖把王派来服侍她的一个名叫哈他革的太监召来,叫他去见末底改,查明事情的原委。 6哈他革就到宫门前的广场见末底改7末底改便将自己的遭遇及哈曼为灭绝犹太人而捐入国库的银子数目都告诉了他。 8末底改还把一份在书珊城颁布的要消灭犹太人的谕旨抄本交给哈他革,让他给以斯帖看,并嘱咐她去见王,为自己的同胞向王求情。 9哈他革回去把末底改的话告诉以斯帖10以斯帖便吩咐哈他革回复末底改说: 11“王的所有臣仆和各省人民都知道有一条法令,不论男女,未蒙宣召擅入内院去见王的必被处死,除非王向他伸出金杖,他才能活命。现在我已有三十天未蒙王召见了。”

12末底改听到以斯帖捎来的话后, 13便回复她说:“你别以为在宫里就比其他犹太人安全。 14如果此时你闭口不语,犹太人必从别处得解脱,蒙拯救,但你和你父亲一家必灭亡。谁知道你得了王后之位不是为了今日之时呢?”

15以斯帖派人回复末底改说: 16“你去召集书珊城所有的犹太人为我禁食,三天三夜不吃不喝,我和我的宫女也要这样禁食。然后,我要违例去见王,我若死就死吧。”

17于是,末底改便去照以斯帖的一切吩咐行事。