Eseza 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Eseza 2:1-23

Eseza Aweebwa obwa Nnabagereka

12:1 Es 1:19-20; 7:10Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo. 2Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera. 3Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga. 4Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.

52:5 1Sa 9:1; Es 3:2Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi, 62:6 a 2Bk 24:6, 15; 2By 36:10, 20 b Dan 1:1-5; 5:13eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi. 72:7 a Lub 41:45 b Lub 39:6Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo.

82:8 nny 3, 15; Nek 1:1; Es 1:2; Dan 8:2Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka. 92:9 a Lub 39:21 b nny 3, 12; Lub 37:3; 1Sa 9:22-24; 2Bk 25:30; Ez 16:9-13; Dan 1:5Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala. 102:10 nny 20Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera. 11Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.

122:12 Nge 27:9; Lu 1:3; Is 3:24Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira. 13Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala. 142:14 a 1Bk 11:3; Lu 6:8; Dan 5:2 b Es 4:11Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.

152:15 a Es 9:29 b Zab 45:14 c Lub 18:3; 30:27; Es 5:8Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira. 16Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe.

172:17 Es 1:11; Ez 16:9-13Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti. 182:18 a 1Bk 3:15; Es 1:3 b Lub 40:20 c Es 1:7Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.

Moluddekaayi Agwa mu Lukwe lw’Okutta Kabaka

192:19 nny 21; Es 3:2; 4:2; 5:13Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri. 202:20 nny 10Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.

212:21 a Lub 40:2; Es 6:2 b Es 1:12; 3:5; 5:9; 7:7Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula. 22Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza. 232:23 a Lub 40:19; Zab 7:14-16; Nge 26:27 b Es 6:1; 10:2Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.