Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi
17:1 Nge 1:8; 2:1Mutabani nyweeza ebigambo byange,
era okuumenga ebiragiro byange.
27:2 Nge 4:4Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
37:3 Ma 6:8; Nge 3:3togalekanga kuva mu ngalo zo,
gawandiike ku mutima gwo.
4Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
57:5 nny 21; Yob 31:9; Nge 2:16; 6:24Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
6Lumu nnali nnyimiridde
ku ddirisa ly’ennyumba yange.
77:7 Nge 1:22; 6:32Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
omulenzi atalina magezi,
8ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
97:9 Yob 24:15olw’eggulo ng’obudde buzibye,
ekizikiza nga kikutte.
10Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
117:11 Nge 9:13; 1Ti 5:13Omukazi omukalukalu,
atambulatambula ennyo atabeerako waka,
127:12 Nge 8:1-36; 23:26-28wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
mu buli kafo konna ng’ateega!
137:13 a Lub 39:12 b Nge 1:20N’amuvumbagira, n’amunywegera
era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
147:14 Lv 7:11-18“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
leero ntukiriza obweyamo bwange.
15Noolwekyo nzize okukusisinkana,
mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16Obuliri bwange mbwaze bulungi
n’engoye eza linena ava mu Misiri.
177:17 a Es 1:6; Is 57:7; Ez 23:41; Am 6:4 b Lub 37:25Mbukubye n’akaloosa,
n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
187:18 Lub 39:7Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19Kubanga baze taliiyo eka;
yatambula olugendo luwanvu:
20Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
217:21 Nge 5:3Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
227:22 Yob 18:10Amangwago omuvubuka n’amugoberera
ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
237:23 a Yob 15:22; 16:13 b Nge 6:26; Mub 7:26; 9:12okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
247:24 Nge 1:8-9; 5:7; 8:32Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
257:25 Nge 5:7-8Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26Kubanga bangi bazikiridde,
ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
277:27 Nge 2:18; 5:5; 9:18; Kub 22:15Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
nga likka mu bisenge eby’okufa.