Engero 4 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Engero 4:1-27

Amagezi ge gali ku Ntikko

14:1 Nge 1:8Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,

era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.

2Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;

temulekanga biragiro byange.

3Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,

omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,

44:4 Nge 7:2yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,

kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.

54:5 Nge 16:16Funa amagezi; funa okutegeera,

teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.

64:6 2Bs 2:10Togalekanga, nago ganaakukuumanga,

gaagale nago ganaakulabiriranga.

74:7 a Mat 13:44-46 b Nge 23:23Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;

noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.

84:8 1Sa 2:30; Nge 3:18Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,

gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.

94:9 Nge 1:8-9Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,

era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”

Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu

104:10 Nge 3:2Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange

olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.

114:11 1Sa 12:23Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,

ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.

124:12 Yob 18:7; Nge 3:23Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;

era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.

134:13 Nge 3:22Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:

kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.

144:14 Zab 1:1; Nge 1:15Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,

wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.

15Lyewalenga, tolitambulirangamu,

liveeko okwate ekkubo lyo.

164:16 Zab 36:4; Mi 2:1Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,

era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.

17Okukola ebibi y’emmere yaabwe,

n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.

184:18 a Is 26:7 b 2Sa 23:4; Dan 12:3; Mat 5:14; Baf 2:15Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,

eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.

194:19 Yob 18:5; Nge 2:13; Is 59:9-10; Yk 12:35Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,

tebamanyi kibaleetera kwesittala.

204:20 Nge 5:1Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;

osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;

214:21 Nge 3:21; 7:1-2ebigambo bino tebikuvangako,

bikuumire ddala mu mutima gwo,

224:22 Nge 3:8; 12:18kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,

era biwonya omubiri gwabwe gwonna.

234:23 Mat 12:34; Luk 6:45Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,

kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.

24Weewalire ddala eby’obubambavu

era n’okwogera ebya swakaba.

25Amaaso go gatunulenga butereevu,

era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.

264:26 Beb 12:13*Ttereeza bulungi amakubo go;

okwate amakubo ageesigika gokka.

274:27 Ma 5:32; 28:14Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;

ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

箴言 4:1-27

父親的教誨

1孩子們啊,

你們要聽從父親的教誨,

留心學習,以便領悟,

2因為我給你們的訓誨是美好的,

不可背棄我的教導。

3我年幼時在父親身邊,

是母親唯一的寵兒。

4父親教導我說:

「要牢記我的話,

遵守我的誡命,就必存活。

5你要尋求智慧和悟性,

不要忘記或違背我的吩咐。

6不可離棄智慧,智慧必護佑你;

你要熱愛智慧,智慧必看顧你。

7智慧至上,要尋求智慧,

要不惜一切,求得悟性。

8高舉智慧,她必使你受尊崇;

擁抱智慧,她必使你得尊榮。

9她必為你戴上華冠,

加上榮冕。」

10孩子啊,你要聽從我的教導,

就必延年益壽。

11我已經指示你走智慧之道,

引導你行正確的路。

12你行走,必不受妨礙;

你奔跑,絕不會跌倒。

13你要持守教誨,不要鬆懈;

要守護好,因為那是你的生命。

14不要涉足惡人的道,

不要行走壞人的路;

15要避開,不可踏足,

要繞道而行。

16因為他們不作惡就無法入睡,

不絆倒人就無法安眠;

17他們吃的是邪惡餅,

喝的是殘暴酒。

18義人的道路好像黎明的曙光,

越照越亮,直到大放光明。

19惡人的道路一片幽暗,

他們不知被何物絆倒。

20孩子啊,你要聆聽我的吩咐,

側耳聽我的訓言;

21不要讓它們離開你的視線,

要牢記在心。

22因為得到它們就得到生命,

全身也必康健。

23要一絲不苟地守護你的心,

因為生命之泉從心中湧出。

24不講欺詐之言,

不說荒謬的話。

25眼睛要正視前方,

雙目要向前直看。

26要鋪平腳下的路,

使所行之道穩妥。

27不可偏右偏左,

要遠離惡事。