Engero 31 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Engero 31:1-31

Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza

131:1 Nge 22:17Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.

231:2 Bal 11:30; Is 49:15Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,

ggwe mutabani w’obweyamo bwange.

331:3 Ma 17:17; 1Bk 11:3; Nek 13:26; Nge 5:1-14Tomaliranga maanyi go ku bakazi,31:3 Abakazi aboogerwako wano be baweereza abakazi abangi ababeera mu lubiri; batabulatabula kabaka ng’akola emirimu gye

newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.

431:4 Nge 20:1; Mub 10:16-17; Is 5:22Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,

si kya bakabaka okunywanga omwenge,

so si kya balangira okwegombanga omwenge,

531:5 a 1Bk 16:9 b Nge 16:12; Kos 4:11si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,

ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.

631:6 Lub 14:18Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,

n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.

731:7 Es 1:10Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,

alemenga kujjukira nate buyinike bwe.

831:8 1Sa 19:4; Yob 29:12-17Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,

otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.

931:9 Lv 19:15; Ma 1:16; Nge 24:23; 29:7; Is 1:17; Yer 22:16Yogera olamulenga n’obwenkanya,

olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.

Omukazi ow’Amagezi

1031:10 a Lus 3:11; Nge 12:4; 18:22 b Nge 8:35; 19:14Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

1131:11 a Lub 2:18 b Nge 12:4Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,

era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.

12Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,

obulamu bwe bwonna.

1331:13 1Ti 2:9-10Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,

n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.

14Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,

aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.

15Agolokoka tebunnakya,

n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,

n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.

16Alowooza ku nnimiro n’agigula;

asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.

17Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,

emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.

18Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,

era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.

19Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,

engalo ze ne zikwata akati akalanga.

2031:20 Ma 15:11; Bef 4:28; Beb 13:16Ayanjululiza abaavu omukono gwe,

n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.

21Mu biseera by’obutiti taba na kutya,

kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.

22Yeekolera ebibikka obuliri bwe,

era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.31:22 Engoye za ffulungu zaali za bbeeyi era nga kabonero ka kikungu

2331:23 Kuv 3:16; Lus 4:1, 11; Nge 12:4Bba amanyibbwa,

y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.

24Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,

n’aguza abasuubuzi enkoba.

25Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,

era tatya ebiro ebigenda okujja.

2631:26 Nge 10:31Ayogera n’amagezi,

era ayigiriza ebyekisa.

27Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,

era talya mmere ya bugayaavu.

28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,

ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,

29“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa

naye bonna ggwe obasinga.”

30Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,

naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.

3131:31 Nge 11:16Mumusasule empeera gy’akoleredde,

n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.

Thai New Contemporary Bible

สุภาษิต 31:1-31

คำสอนของกษัตริย์เลมูเอล

1นี่คือคำสอนของกษัตริย์เลมูเอล เป็นถ้อยคำที่ได้รับการดลใจ31:1 หรือเลมูเอลแห่งมัสสาซึ่งมารดาของพระองค์ทรงสอนไว้

2“ฟังให้ดี ลูกของแม่ ฟังให้ดี ลูกจากครรภ์ของแม่!

ฟังให้ดี ลูกของแม่ ผู้เป็นคำตอบคำอธิษฐานของแม่!

3อย่าเสียแรงกับเหล่าอิสตรี31:3 หรือทรัพย์สิน

อย่าเสียกำลังให้แก่บรรดาผู้ที่ทำลายกษัตริย์

4“เลมูเอลเอ๋ย มันไม่เหมาะสำหรับกษัตริย์ ไม่เหมาะสำหรับกษัตริย์ที่จะดื่มเหล้าองุ่น

ไม่เหมาะสำหรับชนชั้นปกครองที่จะกระหายหาของมึนเมา

5เพราะเมื่อดื่มแล้ว จะลืมสิ่งที่ตราไว้ในตัวบทกฎหมาย

และจะเปลี่ยนบทบัญญัติทำให้ผู้ที่ถูกกดขี่ข่มเหงเดือดร้อน

6สุรามีไว้ให้คนที่กำลังพินาศ

เหล้าองุ่นมีไว้เพื่อผู้ที่ทุกข์ใจ

7ให้เขาดื่มจะได้ลืมความอับจน

และไม่นึกถึงทุกข์เข็ญของตนอีก

8“จงเป็นปากเป็นเสียงให้ผู้ที่ไม่อาจปริปากเพื่อตนเอง

เพื่อสิทธิ์ของผู้ที่สิ้นไร้ไม้ตอก

9จงเป็นปากเป็นเสียงให้พวกเขาและตัดสินอย่างยุติธรรม

จงออกบทบัญญัติเพื่อประโยชน์ของผู้ยากไร้และขัดสน”

บทส่งท้าย

1031:10-31 ในภาษาฮีบรู แต่ละข้อขึ้นต้นด้วยตัวอักษรฮีบรูเรียงตามลำดับใครจะพบภรรยาที่ดีเลิศ?

นางล้ำค่ายิ่งกว่าทับทิมมากนัก

11สามีของนางไว้ใจนางอย่างเต็มที่

และไม่ขาดสิ่งล้ำค่าอันใดเลย

12นางนำสิ่งดีมาสู่เขาไม่ใช่สิ่งร้าย

ตลอดวันเวลาของนาง

13นางเลือกหาขนสัตว์และใยป่าน

และสองมือทำงานอย่างขยันขันแข็ง

14นางเป็นดั่งเรือสินค้า

ที่บรรทุกอาหารมาจากแดนไกล

15นางตื่นขึ้นตั้งแต่ก่อนรุ่งสาง

เพื่อจัดเตรียมอาหารสำหรับคนในครัวเรือน

และแบ่งอาหารให้บรรดาสาวใช้

16นางออกไปสำรวจไร่นาแล้วซื้อไว้

และลงทุนทำสวนองุ่นด้วยเงินที่นางหามาได้

17นางทำงานอย่างขยันขันแข็ง

แขนของนางแข็งแกร่งสู้งานต่างๆ

18นางดูแลกิจการให้ผลกำไรงอกเงย

และกลางคืนตะเกียงของนางก็ไม่ดับ

19มือของนางจับไน

นิ้วของนางจับกระสวย

20นางหยิบยื่นให้คนยากจน

และยื่นมือช่วยคนขัดสน

21เมื่อหิมะตก นางไม่วิตกกังวลเกี่ยวกับคนในครัวเรือน

เพราะทุกคนสวมเสื้อผ้าอย่างดีและอบอุ่น31:21 ภาษาฮีบรูว่าเพราะทุกคนสวมเสื้อผ้าสีแดง

22นางทำผ้าปูที่นอนเอง

เสื้อผ้าของนางทำด้วยผ้าลินินเนื้อดีและผ้าขนสัตว์สีม่วงราคาแพง

23สามีของนางเป็นที่นับหน้าถือตาที่ประตูเมือง

ที่ซึ่งเขานั่งอยู่ในหมู่ผู้อาวุโสของแผ่นดิน

24นางยังได้ทำเครื่องนุ่งห่มด้วยผ้าลินินไว้ขาย

และส่งผ้าคาดเอวให้แก่พ่อค้า

25พลังและศักดิ์ศรีคืออาภรณ์ที่นางสวม

ดังนั้นนางจึงหัวเราะกับอนาคตที่จะมาถึงได้

26ปากของนางเอื้อนเอ่ยสติปัญญา

ลิ้นของนางสอนสิ่งดีงาม

27นางคอยดูแลกิจการทั้งสิ้นในครัวเรือน

และไม่เคยเกียจคร้าน

28ลูกๆ ของนางยืนขึ้นกล่าวยกย่อง

สามีของนางก็ชมเชยนางว่า

29“สตรีจำนวนมากทำสิ่งดีเลิศ

แต่เธอล้ำเลิศยิ่งกว่าพวกเขาทั้งหมด”

30เสน่ห์เป็นสิ่งหลอกลวง และความสวยงามไม่จีรังยั่งยืน

แต่สตรีที่ยำเกรงองค์พระผู้เป็นเจ้าจะได้รับการสรรเสริญ

31จงยกย่องนางเพราะทุกสิ่งที่นางทำ

ให้ประชาชนที่ประตูเมืองสรรเสริญนางเพราะการงานของนาง