Engero 29 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 29:1-27

Obukulembeze bw’Abatuukirivu

129:1 2By 36:16; Nge 6:15Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi,

alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.

229:2 a Es 8:15 b Nge 28:12Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka,

naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.

329:3 a Nge 10:1 b Nge 5:8-10; Luk 15:11-32Ayagala amagezi asanyusa kitaawe,

naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.

429:4 Nge 8:15-16Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu,

naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.

5Omuntu awaanawaana munne,

aba yeetega yekka ekitimba.

629:6 Mub 9:12Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,

naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.

729:7 Yob 29:16; Zab 41:1; Nge 31:8-9Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,

naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.

829:8 Nge 11:11; 16:14Abakudaazi basasamaza ekibuga,

naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.

9Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru,

omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.

1029:10 1Yk 3:12Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima,

era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.

1129:11 Nge 12:16; 19:11Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,

naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.

12Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,

abakungu be bonna bafuuka babi.

1329:13 Nge 22:2; Mat 5:45Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta:

Mukama bombi ye yabawa amaaso.

1429:14 Zab 72:1-5; Nge 16:12Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa,

obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.

1529:15 Nge 10:1; 13:24; 17:21, 25Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,

naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.

1629:16 Zab 37:35-36; 58:10; 91:8; 92:11Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera,

naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.

1729:17 nny 15; Nge 10:1Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,

alireetera emmeeme yo essanyu.

1829:18 Zab 1:1-2; 119:1-2; Yk 13:17Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza,

naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.

19Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka;

ne bw’aba ategedde tafaayo.

2029:20 Nge 26:12; Yak 1:19Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?

Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

21Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto,

oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.

2229:22 Nge 14:17; 15:18; 26:21Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,

n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.

2329:23 Nge 11:2; 15:33; 16:18; Is 66:2; Mat 23:12Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,

naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.

2429:24 Lv 5:1Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye,

era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.

2529:25 Nge 28:25Okutya omuntu kuleeta ekyambika,

naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.

2629:26 Nge 19:6Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,

naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.

2729:27 nny 10Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu;

era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.