Engero 23 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 23:1-35

1Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,

weetegerezanga ebiri mu maaso go;

2era weegendereze

bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.

323:3 nny 6-8Tolulunkanira mmere ye ennungi,

kubanga erimbalimba.

4Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;

weefuge obeere mukkakkamu.

523:5 Nge 27:24Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,

kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro

ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.

623:6 Zab 141:4Tolyanga mmere ya muntu mukodo,

wadde okwegomba ebirungi by’alya.

7Kubanga ye muntu

abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,

n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”

naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.

8Akatono k’onooba olidde onookasesema,

ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.

923:9 Nge 1:7; 9:7; Mat 7:6Totegana kubuulirira musirusiru,

kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.

1023:10 Ma 19:14; Nge 22:28Tojjululanga nsalo ey’edda,

so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,

1123:11 a Yob 19:25 b Nge 22:22-23kubanga abalwanirira w’amaanyi,

alikuggulako omusango.

12Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,

n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.

13Tolekangayo kukangavvula mwana,

bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.

14Mubonerezenga n’akaggo,

kiwonye emmeeme ye okufa.

15Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,

kinsanyusa.

1623:16 nny 24; Nge 27:11Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,

bw’onooyogeranga ebituufu.

1723:17 Zab 37:1; Nge 28:14Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,

kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.

1823:18 Zab 9:18; Nge 24:14, 19-20Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,

n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.

19Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,

okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.

2023:20 Is 5:11, 22; Bar 13:13; Bef 5:18Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,

n’abalulunkanira ennyama:

2123:21 Nge 21:17Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,

n’okubongoota olutata kubambaza enziina.

2223:22 Lv 19:32; Nge 1:8; 30:17; Bef 6:1-2Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,

so togayanga nnyoko ng’akaddiye.

2323:23 Nge 4:7Gula amazima so togatunda,

ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.

2423:24 nny 15-16; Nge 10:1; 15:20Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,

n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.

25Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,

omukazi eyakuzaala ajaguzenga.

2623:26 a Nge 3:1; 5:1-6 b Zab 18:21; Nge 4:4Mwana wange mpa omutima gwo,

n’amaaso go geekalirize amakubo gange,

2723:27 Nge 22:14kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,

n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.

2823:28 Nge 7:11-12; Mub 7:26Ateega ng’omutemu,

n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.

29Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?

Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?

Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?

3023:30 Zab 75:8; Is 5:11; Bef 5:18Abo abatava ku mwenge,

nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.

31Totunuulira wayini ng’amyuse,

bw’atemaganira mu ggiraasi

ng’akka empolampola;

32ku nkomerero aluma ng’omusota,

wa busagwa ng’essalambwa.

33Amaaso go galiraba ebyewuunyo,

n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.

34Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,

obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.

35Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.

Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.

Nnaazuukuka ddi,

neeyongere okunywa?”