Engero 22 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 22:1-29

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

122:1 Mub 7:1Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,

n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

222:2 Yob 31:15Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,

Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

322:3 a Nge 14:16 b Nge 27:12Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,

naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

4Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu

y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

522:5 Nge 15:19Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;

naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

622:6 Bef 6:4Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

7Omugagga afuga abaavu,

naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

822:8 a Yob 4:8 b Zab 125:3Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,

n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

922:9 a 2Ko 9:6 b Nge 19:17Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,

kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

1022:10 Nge 18:6; 26:20Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,

ennyombo n’okuvumagana binaakoma.

1122:11 Nge 16:13; Mat 5:8Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu

era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.

12Amaaso ga Mukama galabirira amazima,

era adibya entegeka z’abatali beesigwa.

1322:13 Nge 26:13Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”

oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

1422:14 a Nge 2:16; 5:3-5; 7:5; 23:27 b Mub 7:26Malaaya mutego gwa kabi,

akolimiddwa Mukama mw’afiira.

1522:15 Nge 13:24; 23:14Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,

naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

16Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,

n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.

1722:17 Nge 5:1Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,

n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.

18Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,

n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.

19Mbikumanyisa leero ggwe,

obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.

20Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula

era ebikuwa okumanya?

2122:21 Luk 1:3-4; 1Pe 3:15Sikulaze ekirungi n’ekituufu,

olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?

2222:22 a Zek 7:10 b Kuv 23:6; Mal 3:5Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,

oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.

2322:23 a Zab 12:5 b 1Sa 25:39; Nge 23:10-11Kubanga Mukama alibawolereza,

n’abo ababanyaga alibanyaga.

24Tokwananga muntu wa busungu,

oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,

2522:25 1Ko 15:33oleme okuyiga amakubo ge

ne weesuula mu mitawaana.

2622:26 Nge 11:15Teweegattanga ku abo abeeyama,

newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.

2722:27 Nge 17:18Bw’oliba nga tolina kya kusasula

ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.

2822:28 Ma 19:14; Nge 23:10Tojjululanga nsalo

bajjajjaabo gye bassaawo edda.

2922:29 Lub 41:46Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?

Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.