Engero 21 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 21:1-31

1Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,

era agukyusiza gy’ayagala yonna.

221:2 Nge 16:2; 24:12; Luk 16:15Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,

naye Mukama apima omutima.

321:3 1Sa 15:22; Nge 15:8; Is 1:11; Kos 6:6; Mi 6:6-8Okukola ebituufu n’eby’amazima

kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.

421:4 Nge 6:17Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,

ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.

521:5 Nge 10:4; 28:22Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,

naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.

621:6 2Pe 2:3Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,

mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.

7Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,

kubanga bagaana okukola eby’ensonga.

821:8 Nge 2:15Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu,

naye ery’abataliiko musango liba golokofu.

921:9 Nge 25:24Okusula ku kasolya k’ennyumba,

kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.

10Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;

talaga muliraanwa we kisa n’akatono.

1121:11 Nge 19:25Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;

n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.

1221:12 Nge 14:11Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,

era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

1321:13 Mat 18:30-34; Yak 2:13Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,

naye alikoowoola nga talina amwanukula.

1421:14 Nge 18:16; 19:6Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,

n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

1521:15 Nge 10:29Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,

naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.

1621:16 Zab 49:14Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,

agukira mu bafu.

1721:17 Nge 23:20-21, 29-35Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo

ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.

1821:18 Nge 11:8; Is 43:3Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi,

n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.

1921:19 nny 9Okubeera mu ddungu,

kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.

20Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo,

naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.

2121:21 Mat 5:6Agoberera obutuukirivu n’ekisa,

alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.

2221:22 Mub 9:15-16Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige,

era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.

2321:23 a Yak 3:2 b Nge 12:13; 13:3Afuga akamwa ke n’olulimi lwe,

yeewoonya emitawaana.

2421:24 Zab 1:1; Nge 1:22; Is 16:6; Yer 48:29“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga,

abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.

2521:25 Nge 13:4Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe,

kubanga emikono gye tegyagala kukola.

2621:26 Zab 37:26; Mat 5:42; Bef 4:28Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,

naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.

2721:27 a Is 66:3; Yer 6:20; Am 5:22 b Nge 15:8Ssaddaaka y’omubi ya muzizo,

na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.

2821:28 Nge 19:5Omujulizi ow’obulimba alizikirira,

naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.

29Omuntu omubi yeekazaakaza,

naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.

3021:30 a Yer 9:23 b Is 8:10; Bik 5:39Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso

ebiyinza okulemesa Mukama.

3121:31 Zab 3:8; 33:12-19; Is 31:1Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,

naye obuwanguzi buva eri Mukama.