Engero 20 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 20:1-30

120:1 Nge 31:4Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,

era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.

220:2 a Nge 19:12 b Nge 8:36Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,

n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.

320:3 Nge 17:14Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,

naye buli musirusiru ayagala okuyomba.

4Omugayaavu talima mu budde butuufu,

kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.

5Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,

naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.

620:6 Zab 12:1Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,

naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?

720:7 Zab 37:25-26; 112:2Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;

ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

820:8 nny 26; Nge 25:4-5Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,

amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.

920:9 1Bk 8:46; Mub 7:20; 1Yk 1:8Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,

ndi mulongoofu era sirina kibi?”

1020:10 nny 23; Nge 11:1Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,

byombi bya muzizo eri Mukama.

1120:11 Mat 7:16Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,

obanga birongoofu era nga birungi.

1220:12 Zab 94:9Okutu okuwulira n’eriiso eriraba

byombi Mukama ye y’abikola.

1320:13 Nge 6:11; 19:15Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,

tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.

14“Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;

naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.

15Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,

naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.

1620:16 a Kuv 22:26 b Nge 27:13Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,

kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.

1720:17 Nge 9:17Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,

naye emufuukira amayinja mu kamwa.

1820:18 Nge 11:14; 24:6Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,

bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.

1920:19 Nge 11:13Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,

noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.

2020:20 a Nge 30:11 b Kuv 21:17; Yob 18:5Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,

ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

21Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,

ku nkomerero tebiba na mukisa.

2220:22 a Nge 24:29 b Bar 12:19Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”

Lindirira Mukama alikuyamba.

2320:23 nny 10Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,

ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

2420:24 Yer 10:23Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,

omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?

2520:25 Mub 5:2, 4-5Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,

naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

2620:26 nny 8Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,

n’ababonereza awatali kusaasira.

27Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,

n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.

2820:28 Nge 29:14Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,

era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.

2920:29 Nge 16:31Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,

envi kye kitiibwa ky’abakadde.

3020:30 Nge 22:15Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,

n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.