Engero 19 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 19:1-29

119:1 Nge 28:6Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,

asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

219:2 Nge 29:20Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,

n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

3Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,

kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

419:4 Nge 14:20Obugagga buleeta emikwano mingi,

naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

519:5 a Kuv 23:1 b Ma 19:19; Nge 21:28Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,

era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.

619:6 a Nge 29:26 b Nge 17:8; 18:16Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,

era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.

719:7 nny 4; Zab 38:11Baganda b’omwavu bonna bamwewala,

mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?

Wadde abagoberera ng’abeegayirira,

naye tabalaba.

819:8 Nge 16:20Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,

n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

919:9 nny 5Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,

n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

1019:10 a Nge 26:1 b Nge 30:21-23; Mub 10:5-7Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,

kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?

1119:11 Nge 16:32Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,

era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

1219:12 a Zab 133:3 b Nge 16:14-15Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,

naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.

1319:13 a Nge 10:1 b Nge 21:9Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,

n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.

1419:14 a 2Ko 12:14 b Nge 18:22Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,

naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

1519:15 Nge 6:9; 10:4Obugayaavu buleeta otulo tungi,

n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

1619:16 Nge 16:17; Luk 10:28Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,

naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

1719:17 Mat 10:42; 2Ko 9:6-8Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,

era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

1819:18 Nge 13:24; 23:13-14Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,

oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

19Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,

kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.

2019:20 a Nge 4:1 b Nge 12:15Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,

oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.

2119:21 Zab 33:11; Nge 16:9; Is 14:24, 27Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;

byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

22Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,

okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

2319:23 Zab 25:13; Nge 12:21; 1Ti 4:8Okutya Mukama kutuusa mu bulamu;

olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.

2419:24 Nge 26:15Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,

n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.

2519:25 Nge 9:9; 21:11Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,

buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.

2619:26 Nge 28:24Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,

aleeta obuswavu n’obuyinike.

27Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,

onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.

2819:28 Yob 15:16Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,

n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.

2919:29 Nge 26:3Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,

n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.