Engero 18 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 18:1-24

Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru

1Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,

era tawuliriza magezi gamuweebwa.

218:2 Nge 12:23Omusirusiru tasanyukira kutegeera,

ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.

3Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,

era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.

4Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,

naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.

518:5 a Lv 19:15; Nge 24:23-25; 28:21 b Zab 82:2; Nge 17:15Si kirungi kuttira mubi ku liiso,

oba okusaliriza omutuukirivu.

6Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo

era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.

718:7 a Zab 140:9 b Zab 64:8; Nge 10:14; 12:13; 13:3; Mub 10:12Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,

era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.

818:8 Nge 26:22Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,

bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

918:9 Nge 28:24Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,

waluganda n’oyo azikiriza.

1018:10 2Sa 22:3; Zab 61:3Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,

omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

1118:11 Nge 10:15Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,

era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.

1218:12 Nge 11:2; 15:33; 16:18Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.

1318:13 Nge 20:25; Yk 7:51Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,

buba busirusiru bwe era buswavu.

1418:14 Nge 15:13; 17:22Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,

naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

1518:15 Nge 15:14Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,

amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.

1618:16 Lub 32:20Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,

era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.

17Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,

okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.

1818:18 Nge 16:33Okukuba akalulu kimalawo empaka,

era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.

19Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,

era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.

2018:20 Nge 12:14Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;

ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.

2118:21 Nge 13:2-3; Mat 12:37Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,

era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

2218:22 a Nge 12:4 b Nge 19:14; 31:10Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

23Omwavu yeegayirira,

naye omugagga addamu na bbogo.

2418:24 Nge 17:17; Yk 15:13-15Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,

naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 18:1-24

1孤傲者独善其身,

他恼恨一切真知。

2愚人不喜欢悟性,

只喜欢发表意见。

3邪恶与藐视同行,

无耻与羞辱为伴。

4人口中的话如同深水,

智慧之泉像涓涓溪流。

5袒护恶人、冤枉义人都为不善。

6愚人说话引起纷争,

他的口招来鞭打。

7愚人的口自招灭亡,

他的嘴坑害他自己。

8闲言碎语如同美食,

深入人的五脏六腑。

9懒惰人与毁坏者臭味相投。

10耶和华的名是坚固保障,

义人投奔其中就得安稳。

11财富是富人的坚城,

在他幻想中是高墙。

12骄傲是败亡的前奏,

谦虚是尊荣的先锋。

13未听先答的人,

自显愚昧和羞辱。

14人的心灵能忍受疾病,

谁能忍受破碎的心灵?

15哲士的心得知识,

智者的耳求知识。

16礼物为人开路,

领人晋见权贵。

17先告状的看似有理,

一经对质真相大白。

18抽签可以平息争端,

调解强者间的纠纷。

19与结怨的兄弟和解比攻城还难,

争端难破,如坚城的门闩。

20人因口中所说的话而饱足,

因嘴中所出的言语而满足。

21口舌能够定生死,

多嘴多言食恶果。

22得到妻子就是得到珍宝,

也是蒙了耶和华的恩惠。

23穷人哀声恳求,

富人恶言相向。

24滥交友,自招损;

得知己,胜手足。