Engero 17 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Engero 17:1-28

117:1 Nge 15:16, 17Okulya akamere akaluma awali emirembe,

kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.

2Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,

era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.

317:3 a Nge 27:21 b 1By 29:17; Zab 26:2; Yer 17:10Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,

naye Mukama agezesa emitima.

4Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,

era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.

517:5 a Nge 14:31 b Yob 31:29 c Ob 12Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,

n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.

617:6 Nge 13:22Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,

era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

7Enjogerannungi teba ya musirusiru,

ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.

8Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,

alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.

917:9 a Nge 10:12 b Nge 16:28Okwagala tekulondoola nsobi,

naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.

10Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,

okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.

11Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,

era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.

12Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,

kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

Ebbeeyi y’Amagezi

1317:13 Zab 109:4-5; Yer 18:20Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,

ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

1417:14 Nge 20:3Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,

noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.

1517:15 a Nge 18:5 b Kuv 23:6-7; Is 5:23Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,

bombi ba muzizo eri Mukama.

1617:16 Nge 23:23Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,

ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?

17Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,

era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.

1817:18 Nge 6:1-5; 11:15; 22:26-27Omuntu atalina magezi awa obweyamo

ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.

19Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,

n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.

20Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,

n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.

2117:21 Nge 10:1Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike,

kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.

2217:22 Zab 22:15; Nge 15:13Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,

naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

2317:23 Kuv 23:8Omuntu omubi alya enguzi mu kyama,

alyoke aziyize amazima okweyoleka.

2417:24 Mub 2:14Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,

naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.

2517:25 Nge 10:1Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,

era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

2617:26 Nge 18:5Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere

wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.

2717:27 Nge 14:29; Yak 1:19Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,

n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.

2817:28 Yob 13:5Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,

era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Мудрые изречения 17:1-28

1Лучше сухая корка с покоем и миром,

чем дом, полный заколотого скота, а в нём – вражда.

2Мудрый раб будет править беспутным сыном хозяина

и получит долю наследства, как один из братьев.

3В тигле испытывается серебро,

в горне плавильном – золото,

а сердца испытывает Вечный.

4Нечестивый слушает речи злодея;

лгун внимает пагубному языку.

5Издевающийся над нищим оскорбляет его Создателя,

радующийся несчастью не останется безнаказанным.

6Внуки – венец старикам,

а отцы – гордость своих сыновей.

7Не пристала глупцу высокая речь,

а тем более правителю – лживое слово!

8Взятка – как волшебный камень в глазах дающего её:

куда он ни повернётся, преуспеет!

9Прощающий оскорбление ищет любви,

а напоминающий о нём отталкивает близкого друга.

10Упрёк сильнее воздействует на разумного,

чем сто ударов на глупца.

11Только смуты ищет злодей,

и вестник17:11 Или: «ангел». безжалостный будет послан против него.

12Лучше встретить медведицу, лишённую медвежат,

чем глупца с его глупостью.

13Если человек воздаёт злом за добро,

зло не покинет его дома.

14Ссору начать, что плотину пробить;

остановись, прежде чем она вспыхнет.

15Оправдывающий виноватого и обвиняющий невиновного –

Вечный гнушается их обоих.

16Зачем глупцу на премудрость деньги,

если учиться он не желает?

17Друг любит во всякое время,

и брат рождён разделить беду.

18Лишь неразумный человек даёт залог,

чтобы ручаться за другого.

19Кто любит ссоры, тот любит грех;

кто бахвалится, ищет падения.

20Лукавый сердцем не преуспеет;

лживый язык попадёт в беду.

21Горе тому, кто родил глупца;

нет радости отцу невежды.

22Весёлое сердце исцеляет, как лекарство,

а подавленный дух иссушает кости.

23Нечестивый тайно берёт взятку,

чтобы извратить пути правосудия.

24Разумный не отводит от мудрости взгляд,

а глаза глупца блуждают на краях земли.

25Глупый сын – горе для отца

и горечь для матери.

26Нехорошо и наказывать невиновного,

и знатных бичевать за правду.

27Человек знания осторожен в словах,

и рассудительный – хладнокровен.

28Даже глупца, когда молчит, мудрым сочтут,

и когда он удерживает язык, может показаться рассудительным.