Engero 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 15:1-33

115:1 Nge 25:15Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,

naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.

215:2 Nge 12:23Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,

naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.

315:3 a 2By 16:9 b Yob 31:4; Beb 4:13 c Yob 34:21; Yer 16:17Amaaso ga Mukama galaba buli wantu,

alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.

4Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,

naye olulimi olulimba lubetenta omutima.

515:5 Nge 13:1Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,

naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.

615:6 Nge 8:21Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,

naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.

7Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,

naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.

815:8 a Nge 21:27; Is 1:11; Yer 6:20 b nny 29Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,

naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.

915:9 Nge 21:21; 1Ti 6:11Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,

naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.

1015:10 Nge 1:31-32; 5:12Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,

n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.

1115:11 a Yob 26:6; Zab 139:8 b 2By 6:30; Zab 44:21Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama,

n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!

1215:12 Am 5:10Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,

era teeyeebuuza ku b’amagezi.

1315:13 Nge 12:25; 17:22; 18:14Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,

naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.

1415:14 Nge 18:15Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,

naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.

1515:15 nny 13Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera,

naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.

1615:16 Zab 37:16-17; Nge 16:8; 1Ti 6:6Okuba n’akatono ng’otya Mukama,

kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.

1715:17 Nge 17:1Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,

kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.

1815:18 a Nge 26:21 b Lub 13:8Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,

naye omugumiikiriza akakkanya embeera.

1915:19 Nge 22:5Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,

naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.

2015:20 Nge 10:1Omwana omugezi asanyusa kitaawe,

naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

2115:21 Nge 10:23Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,

naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.

2215:22 Nge 11:14Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,

naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.

2315:23 a Nge 12:14 b Nge 25:11Okuddamu obulungi kisanyusa,

era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.

24Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,

ne limuziyiza okukka emagombe.

2515:25 a Nge 12:7 b Ma 19:14; Zab 68:5-6; Nge 23:10-11Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,

kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.

2615:26 Nge 6:16Enkwe za muzizo eri Mukama,

naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.

2715:27 Kuv 23:8; Is 33:15Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,

naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.

2815:28 1Pe 3:15Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,

naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.

2915:29 Zab 145:18-19Mukama ali wala n’aboonoonyi,

naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.

30Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,

n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.

3115:31 nny 5Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,

alituula wamu n’abagezi.

3215:32 Nge 1:7Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,

naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.

3315:33 a Nge 1:7 b Nge 18:12Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,

n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.