Engero 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 14:1-35

114:1 Nge 24:3Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,

naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

2Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,

naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.

314:3 Nge 12:6Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,

naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.

4Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,

naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.

514:5 Nge 6:19; 12:17Omujulizi ow’amazima talimba,

naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.

6Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,

naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.

7Teweeretereza muntu musirusiru,

kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.

814:8 nny 24Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,

naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.

9Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,

naye abalongoofu baagala emirembe.

10Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,

tewali ayinza kugusanyukirako.

1114:11 Nge 3:33; 12:7Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,

naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.

1214:12 a Nge 12:15 b Nge 16:25Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,

naye ng’enkomerero yaalyo kufa.

1314:13 Mub 2:2Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,

era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.

1414:14 a Nge 1:31 b Nge 12:14Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,

n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.

15Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,

naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.

1614:16 Nge 22:3Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,

naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.

1714:17 nny 29Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,

n’omukalabakalaba akyayibwa.

18Abatalina magezi basikira butaliimu,

naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.

1914:19 Nge 11:29Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,

n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.

Omugagga n’Omwavu

2014:20 Nge 19:4, 7Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,

naye abagagga baba n’emikwano mingi.

2114:21 a Nge 11:12 b Zab 41:1; Nge 19:17Anyooma muliraanwa we akola kibi,

naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.

22Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?

Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.

23Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,

naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

24Abagezi bafuna engule ey’obugagga,

naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.

2514:25 nny 5Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,

naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.

2614:26 Nge 18:10; 19:23; Is 33:6Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,

era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.

2714:27 Nge 13:14Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,

kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.

28Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,

naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.

2914:29 Mub 7:8-9; Yak 1:19Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,

naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.

3014:30 Nge 12:4Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,

naye obuggya buvunza amagumba ge.

3114:31 Nge 17:5Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,

naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.

3214:32 a Nge 6:15 b Yob 13:15; 2Ti 4:18Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,

naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.

3314:33 Nge 2:6-10Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,

era yeeyoleka ne mu basirusiru.

3414:34 Nge 11:11Obutuukirivu buzimba eggwanga,

naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.

3514:35 Mat 24:45-51; 25:14-30Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,

naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.